Bya Pauline Nanyonjo
Mayirye-Busujju
#EmmwanyiTerimba: Katikkiro alambudde Ekibiina ky’obweggassi ki Kakindu Twegatte Coffee Farmers Group (KTCFG) abalimira ku kyalo Mayirye mu ggombolola lya Ssabadu Kakindu mu ssaza Busujju, buli mmemba wakiri alina yiika emu n’okusoba ey’emmwaanyi.

Mu bubaka bwe eri abeegassi bano, Katikkiro alaze nti okwolesebwa kwa buli muganda kulina kusimba mu kaweefube wa kuzza Buganda ku Ntikko ekisoboka okutuukirbwako singa buli muntu anyiikira okukola.
”Okuzza Buganda ku Ntikko kitandikira ku muntu awo waali, gwe ate tunazza tutya Buganda ku Ntikko nga ab’awano e Mayirye tebalina wadde akantu mwe bajja sente kale ffe tuli ku mulembe Mutebi tukole ebyo ebigujaamu nga okulima emmwaanyi mu ngeri ey’omutindo,” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro akubirizza abavubuka okulekeraawo okukungiriza ebizibu wabula buli omu asinziire mu kitundu kwali ateekewo enjawulo.”Ka mabakakase bwe munaaba abamalirivu tujja kukyusa obulamu ku mulembe guno Omutebi era tewaba abalimba nti waliwo anaabajjuna kuba ne Katonda agaya nnyo abagayavu” Katikkiro bwanyonyodde.

Abeegasi, Oweek Mayiga abalaze nti bwe beegata amaanyi bagafuna okukola emirimu kale abakubirizza okwegatta g’agamba nti kirungi bannabusujju okwegatta ku bibiina nga bino kuba birina okwolesebwa nga okugula ekyuma nabo benyigire butereevu mu katale k’emmwaanyi.
Minisita Noah Kiyimba asinzidde wano ne yebaza abalimi abali mu kibiina ky’obwegassi ekyo olw’okwettanira ennima ez’omulembe nga ey’okufukirira nga bakozesa amaanyi ge njuba.
Kasujju Israel Lubega Maaso asiimye Katikkiro olw’okusoosowaza abeegassi, abakyala n’abavubuka mu kulambula abalimi b’emmwanyi, ng’agamba nti kibazzaamu amaanyi okwongera okulima emmwanyi. Ono mu ngeri y’emu alaze nti emmwanyi zikyusizza nnyo obulamu bwa Bannabusujju nga n’ebyuma ebyongera omutindo ku mmwaanyi byeyongedde okuva ku kimu kye baalina mu ggombolola yonna okuwerera ddala 9 kati.
Ssentebe wa Kakindu Twegatte Coffee Farmers Group Yiga Vicent alaze nti ekibiina kyabwe baakitandika mu 2023 nga kaakano balina bammemba 30. Ono agamba nti okugunjaawo ekibiina kino kyava mu bwagazi bw’enkulakulana nga emiramwa kwe batambulira kwekuli; okuyambagana mu byensimbi, okuwaŋŋana amagezi ku nnima entuufu so n’ekirubirirwa kye balina kwe kugula ettaka bongere ku nnyigiza y’ekibiina.
Ekibiina kino Katikkiro wasookedde okulambula abalimi ku bugenyi bwe e Busujju.
