Wuuno Omusirikale mu Bwakabaka alima emmwanyi

Amawulire Sep 30, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Ngugulo – Busujju

Omusirikale avunanyizibwa ku byokwerinda mu Bwakabaka Captain Christopher Lutwama y’omu ku bantu abaawuliriza omulanga gw’okulima emmwaanyi nga naye alina yiika 2 ku kyalo Ngugulo mu ggombolola ye Kakindu mu Busujju.

Kamalabyonna Mayiga almabudde ennimiro ye n’alaga nti kizzaamu nnyo amaanyi okulaba nga abaweereza ba Kabaka benyigira butereevu mu kulima emmwaanyi ate ne bazirabirira bulungi nga Captain Lutwaama bw’akola kuzize, era ng’ono amutegeezeza nti ye kenyinni y’azirabirira

“Okwogera kw’emmwaanyi gwe nnyini zo kwe kumanya obulamu bwazo nga olambula kikolo ku kikolo n’osobola okumanya obulamu bwazo kale abaagala okulima emmwaanyi nga mulina emirimu emirala nga Captain Lutwaama mubeere n’enteekateeka y’okunyumya nazo’ Oweek Mayiga bwayogedde.

Owoomumbuga yebazizza nnyo bazadde ba Lutwama olw’okukuza omwana waabwe n’empisa ennungi n’afuuka ow’omugaso ate ne batamutiisa magye so nabo ne batamwekanya bakola nabo. Wano Katikkiro ajjukiza Lutwaama nti naye nga omuzadde afube okukuliza abaana be mu kkubo lye limu, nga bakozi.

Katikkiro era asabye abazadde okukiriza abaana baabwe okuyingira amagye nga bagoberera emitendera gyonna basobole okukuzibwa baberenga Lutwama bwali

Minisita w’Amawulire Owek. Israel Kazibwe Kitooke alaze nti Captain Lutwama aleese essanyu mu bantu bonna omuli bazadde be, bakoleramu ko bawangaliramu era wasabidde abavubuka okulabira ku bantu nga ono.

Minisita Israel Kazibwe Kitooke ng’ayogera eri abantu

Omuk. John Kitenda, Omuwanika w’e Nkuluze, ekitongole ekitwala Captain Lutwama yebaziza Lutwama olw’obukozi wamu ne bazadde be olw’okumukuza nga mukozi mu mitendera gyonna nga abeera mwetefuteefu okukola buli kiba kimulagidwa.

Ye Captain Lutwama alaze nti okusimba emmwaanyi yakigya mu bigambo bya Katikkiro kyokka bbo abakolera omusaala oluusi balemala so nga tegumala kale we batuuka mu kiseera ky’okuwummula emirimu tebaba na matabi kwe beekute okugyamu ensimbi ezinaabayamaba mu bukadde. Ono anyonyodde nti obubaka obugabibwa embuga bbo nga abawereza be balina okusookerwako okubusa mu nkola nga kati nga buno obwa emmwaanyi terimba.

Captain Lutwama akwasiddwa omuzinga gw’enjuki okusobola okuzzaawo enjuki mu mmwaanyi ate Katikkiro era asimbye n’omutuba mu kuzzaawo obutondebwensi n’okwambaza ennimiro.

LANGUAGE