
Bya Samuel Stuart Jjingo
Mukungwe – Buddu
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Oweek Dr. Anthony Wamala akomekkerezza olutabaalo lw’abaddeko olw’okulambula obutaka bw’ebika mu ssaza Buddu nga asembedde ku butaka bw’Ekika ky’Ennyonyi Endiisa e Mukungwe gy’asinzidde okuvumirira abaami abeesuuliddeyo ogw’annagamba eri obukulembeze mu maka gaabwe.
Owek. Wamala agamba nti ebika bisaanidde okumanyisa abaami mu kika obuvunanyizibwa bwe balina nga besigama ku nnono ya bajjajjabwe eyasoosoowazanga omwami okubeera omukulu w’amaka. Alaze obwennyamivu eri amaka mwosanga abaana, omukyala oba omuzzukulu nga y’awa ebiragiro ekyongedde okuttatana ekifaananyi eky’amaka.
Minisita akuutidde abakulembeze mu Bika okuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe ebikulu ebiri ku butaka bw’Ekika bidde ku mutendera ogw’omulembe omuggya okugeza nga ebiggwa enyumba enkulu n’ebifo ebirala eby’enkizzo.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Namwama Augustine Kizito Mutumba agamba nti ebika bya nkizo nnyo mu byafaayo by’Obwakabaka y’ensonga lwaki Ssaabasajja Kabaka ye Ssaabattaka era nga yakulemberamu enteekateeka y’ennono mu Buganda.
Omutaka Kaliika Hajj Abdul Ssenyonga asanyukidde nnyo okukyala kwa Minisita n’amutegeza nti Ekika kyabwe kya byafaayo olw’omukisa nti kye kimu ku bitono ebyakakyaaza Ssaabasajja Kabaka.

Katikkiro w’Ekika kino Dr. Ddungu Livingstone ayanjulidde Minisita enteekateeka y’ebirindiridde okukolebwako mu kika okuli okuzimba ebizimbe gagadde ku butaka, okuwandiisa ettaka ly’Obutaka, ttaabamiruka akolebwa ekika kino atuula nga 10 mu mwezi ogusooka buli mwaka n’ebirala.
Obutaka buno bwabaweebwayo Ssekabaka Jjunju nga akasiimo eri Kaliika omuberyeberye Katabira Katabalwa, oluvanyuma lw’okuyambako Ssekabaka Jjunju nga atabaala awambe Buddu okuva ku Bunyoro okugizza ku Buganda.
Kino ekika kya 35 ku bika Minisita Wamala byeyakalambula nga atuusa obubaka obwenjawulo obukuutira ebika okweyunira enkulaakulana ku butaka bwabwe nga olwaleero wabaddewo abamasiga, abemituba n’Abaliisa ab’enjawulo.
