Katikkiro Mayiga Akubirizza Bannaddiini Okusoosowaza Enkulaakulana

Amawulire Nov 03, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Masaka – Buddu

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Bannaddiini okusoosowaza enkulakulaana mu Bakristu basobole okusituka mu mbeera zaabwe awamu n’okukwatizaako Eklezia emirimu gy’ekola.

Owek. Mayiga okwogera bino abadde yetabye mu mmisa y’okuggulawo ttabamiruka wa Synod ow’omukaaga ategekeddwa e Masaka mu Lutikko e Kitovu e Buddu wansi w’omulamwa.

“Nsaba Eklezia okuteeka essira ku nsonga y’enkulakulaana ku mutendera gw’essaza n’Omukristu owa bulijjo olwo n’emirimu egikolebwa Eklezia gitambule, awo nno nkubiriza bannaddiini okusoosowaza enkulaakulana y’omukristu wakati mu kulyowa emyoyo.“ Katikkiro Mayiga.

Kamalabyonna yebazizza Eklezia eno olw’okuteekawo amasomero agakoze obulungi okuteekateeka omwana ow’enkya wabula n’akinoganya nti kikulu nnyo okulaba nga amasomero gasigala ku mulamwa ogwagatekesaawo naddala okusigala ku nsonga y’obuntubulamu.

Obubaka bwa Ssaabasumba ow’essaza ekkulu ery’e Kampala busomeddwa Msgr. Charles Kasibante mw’akubirizza abakkirizza okukolera awamu nga bwebabadde okumala ekiseera kyonna.

Akulembeddemu emmisa eno, omusumba w’essaza ly’e Masaka, Serverus Jjumba agamba nti ttabamiruka ono abayambako nnyo okumanya Eklezia bweyimiridde nga bekennenya buli kasonda ak’ekuusa ku Eklezia okumala ebbanga eriyise nga tebatuula.

Omusumba Jjumba agamba nti Synod egendereddwamu okuvaamu ebibala ebirungi ebikuza Ekeleziya okutambula nga edda mu maaso mu ddiini n’evanjiri okunnyikira mu bantu nga omulamwa bwegugamba era alina essuubi nti ttabamiruka ono agenda kuvaamu ebibala eby’omuwendo.

Omulamwa gwa ttabamiruka w’omulundi guno guli nti “Okubeera Eklezia Annyikidde Evanjiri era Agirangirira, Atambulira Awamu era Eyeeyimirizawo nga Tusimbye mu Katabi.”Omulabirizi

Omulabirizi wa West Buganda Diocese Gasta Nsereko asinzidde wano n’agamba nti musanyufu okuyitibwa mu ttabamiruka ono ekiraga akabonero akalafuubana okunyweza enkolagana wakati w’Eklezia n’Ekkanisa era kigenda kuyambako okukumaakuma abantu bonna okwezimba, okukulakulaana n’okwebezaawo wansi w’omulamwa gwa ttabamiruka ono.

Synod lwe lukuŋŋaana olutegekebwa Eklezia okuyita mu bikoleddwa n’okukuba ttooci mu biteekebwateekebwa okukolebwa nga lwetabibwamu enzikiriza zonna era ttabamiruka ow’omulundi guno yetabiddwamu Omubaka wa Paapa Leo XIV okuva mu ggwanga lye Togo Rev. Fr. George Kwami Kouwonou, Omulabirizi wa West Buganda Diocese Gasta Nsereko n’omukyala, Sheikh Kiruuta Badru Wasajja atwala ebendobendo ly’e Masaka, n’abantu abalala.Wakumala

Wakumala ennaku munaana nga yatandise ggulo okutuuka nga 9 omwezi guno mu Kitovu Sports Arena nga Ali ku mulamwa; “Okubeera Eklezia Annyikidde Evanjiri era Agirangirira, Atambulira Awamu era Eyeeyimirizawo nga Tusimbye mu Katabi.”Omulabirizi

Ttabamiruka ekikula kino yasemba okutuuzibwa mu mwaka gwa 2003 nga akulemberwa eyali Omusumba w’Essaza ly’e Masaka Bishop John Baptist Kaggwa.

LANGUAGE