28 Mutunda 2023 Scandinavia, Abantu ba Ssaabasajja abawangalira mu mawanga akola e Ssaza Scandinavia bakuzizza olunaku lwa Buganda lwebatuumye, “Buganda day” 2023.
Omukolo guno gubadde ku Folkets Husby Stockholm mu Sweden, wansi w’Omulwamwa “Omukyala mpagi mu kukulaakulanya Buganda”. Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Ssaza Scandinavia, Oweek. Nelson Mugenyi y’abadde omugenyi omukulu. Ab’ekitiibwa n’Abakungu ba Kabaka ab’enjawulo beetabye ku mukolo guno, Omubaka wa Ssaabasajja mu Netherlands Owek. Sam Ssekajugo Musoke n’Omumyuka we Oweek Linda Ssekayita, Omukungu Baker Kabugo William owa Sweden, Omuk. Martin Kalule owa Seattle USA, Omuk. Kaggwa Edward Ndagala Ssenkulu wa Kabaka Foundation, n’Omuk. Godfrey Sseruwu, Ssenkulu omuggya owa Kabaka Foundation mu Ssaza Scandinavia.
Omukiise w’Abakyala ku lukiiko lw’Omubaka e Scandinavia, Olivia Nankya, ye yakulembeddemu enteekateeka. Enteekateeka zaakulembeddwamu emisomo egy’enjawulo nga gitambulira ku miramwa egiwerako, era abasomesa abatali bamu baabangudde abantu ba Kabaka ku miramwa gino egyasimbye essira ku kukuuma obuwangwa n’ennono. 1. Omukyala n’obufumbo ne (Omuk. Linda Kayita). 2. Omukyala ow’Omulembe Omutebi ne (Muky. Leah Mutaawe). 3. Okwekulaakulanya nga tuyita mukukolera awamu (Muky. Namuddu Janet Magato). 4. Abawala abato abaakulira mu Sweden okukuuma obuwangwa n’e nnono (Musawo Aisha Nalusiba). 5. Amazzi mu nkulaakulanya y’Amaka (Hajjati Mary Luyombya). 6. BiKi byebasobola okuyiga okuva mu Sweden.
Oluvannyuma wabaddewo okusanyusibwamu n’amazina amaganda, katemba n’okuyimba, abayimbi okuli Julie Heartbeat okuva e Netherlands, Jose Pro ne Big Solo Sweden, be baakulembeddemu eby’ensanyusa.