Abaana bwebatayigirizibwa byakukola mu buto bakona!

Amawulire Nov 29, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Kampala – Kyaddondo

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa akubirizza abazadde okukomya okukonya abaana baabwe nga bazzeeyo awaka mu luwummula.

Okwogera bino, asinzidde mu kutongoza ennyimba empya z’amasomero ga Pamville ku Theatre Labonita e Kyaddondo.Owek

Owek. Waggwa asabye abazadde okukolera abaana baabwe olukangaga lw’ebintu bye balina okukola awaka okugeza nga okwoza ebintu, okuyonja ennyumba n’ebintu ebirala kibayambeko okusobola okuwangula ensi eno gye bawangaliramu.

Owek. Waggwa asabye abazadde okufissa ebiseera babeererewo abaana baabwe ku mikolo n’obubaga obw’enjawulo obutegekebwa amasomero ky’agamba nti bayita mu nkungaana nga ezo okumanya obusobozi bwabwe.

“Okwolesa ebitone kiyambako nnyo abayizi okwogiwaza obwongo n’okukuba ttooci mu bintu ebikolebwa mu nsi nga bakuze,” Waggwa.

Oweek. Waggwa bano abeebazizza okufulumya ennyimba zaabwe ebiri z’atenderezza okubeera ennyuvu ennyo nga zigenda kuyambako nnyo abaana okwongera okumanya ku buwangwa bwabwe.Muky

Muky. Frank Pamela Nalukwago Ntalo nga ye mutandisi w’amasomero gano, asabye abazadde okukuuma abaana obulungi mu kaseera ke bagendamu era yebaziza nnyo abazadde bonna abatindizze engendo okujja ku mukolo guno.

LANGUAGE