QzxBoczVErUnEZ54nWHtcQQ3Z7OqQgiveIZcfQZB

KASUBI TOMBS RE-OPENING; OMUWENDO GW’ABALAMBUZI MU UGANDA GWA KULINNYA.

“Mu kiseera kino Amasiro tegannagulwawo eri Abalambuzi, wabula tulina essuubi nti okuggulwawo kw’ago kugenda kwongera ku muwendo gw’abalambuzi abajja mu Uganda”

Oweek. Dr. Anthony Wamala, Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda asisinkanye bannamawulire olwaleero oluvannyuma lw’Amasiro ge Kasubi okuggyibwa ku lukalala lw’ebifo eby’enkizo ebiri mu katyabaga. Ategeezeza nti wakyaliwo ebintu ebimalirizibwa ku Masiro, wabula omulimu weguli guwa essuubi nti mu bbanga eritali lye wala, Amasiro gajja kuggulibwawo era Abantu baddemu okugalambula

Minisita agamba nti Omulimu gw’okuddaabiriza Amasiro ekigukeereyeseza kwe kugoberera ennono n’obuwangwa eby’etoolorera ku nzimba yaago wabula kati ebisigadde bitono nnyo.
Minisita ayongeddeko nti Amasiro ge Kasubi kifo kya muwendo nnyo eri Buganda, Uganda n’Ensi yonna, era ennyumba Muzibu-Azaala-Mpanga mu nsi yonna tolina wooyinza kugisanga olw’Obuwangwa, ebyafaayo n’engeri gye yawundibwamu.

Oweek. Wamala akubiriza abantu okukuuma ebifo eby’Obulambuzi nga biri mu mbeera nnungi kubanga bisobolera ddala okuleeta ensimbi nnyingi eri Buganda ne Uganda yonna. Yeebaziza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okulambikanga ebbanga lyonna ku birina okukolebwa, ne yeebaza ne Kamalabyonna olw’obukulembeze bwe n’okulafuubana okulaba nga omulimu guno gugguka.

Minisita akomekkereza ng’asaba Obuganda, Uganda n’Ensi yonna okufuba okulaba ng’Amasiro gakuumibwa ku mutindo gw’Ensi yonna.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *