Obwakabaka bwa Buganda butendese abakuuma obutebenkevu ku bisaawe

Amawulire Apr 23, 2026
Share This

Bya Huzairu Jjuuko Wasajja

Obwakabaka bwa Buganda bunnyikizza enteekateeka y’okutendeka abavubuka abayambako okukuuma emirembe n’obutebenkevu ku bisaawe naddala abanaakola mu mpaka z’omupiira gw’Amasaza ezigenda okutandika essaawa yonna.

Enteekateeka eno yatandikidde mu Ssaza Kyaddondo era egenda ebunyisibwa amasaza gonna okulaba nti buli ssaza libeera n’abakuuma obutebenkevu baalyo nga batendekeddwa bulungi era nga balina obukugu mu kaweefube w’okwongera okukendeeza effujjo ku bisaawe.

Mu buli ssaza abavubuka 30 be batendekebwa okukola omulimu guno, ekitegeeza nti buli lwe wanaabangawo omupiira oguzannyibwa mu Ssaza, wasobola okubaawo abakuuma obutebenkevu wakati wa 30-60 nga kuliko abava mu Masaza gombi erikyaza n’erikyala.

Omusomesa omukulu mu misomo ye Ssentebe w’olukiiko olw’obukuumi n’obutebenkevu ku bisaawe mu mipiira gy’amasaza Owek. Hassan Kiyemba, nga yegattibwako n’abakugu ab’enjawulo mu nsonga z’obutebenkenvu ku bisaawe.

Mu kiseera kino emisomo gimaliriziddwa mu masaza Kyaddondo era eno gwaggaddwawo Omumyuka Owookubiri owa Kaggo Dr. Phionah Kalinda, Bugerere gwaggwaddwawo Mugerere Oweek. Samuel Ssemugooma, Busujju gwagguddwawo Omumyuka wa Kasujju Christopher Nsimbe, gitambuzibwa okumalayo amasaza gonna 18.

LANGUAGE