Empaka za Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda 2026 zeyongedde ebbugumu

Amawulire Apr 27, 2026
Share This

Bya Munaawa Dan

Aba kkampuni ya New Destiny Property Services Construction Ltd nga bakulembeddwamu omutandisi waayo, Muwanguzi Peter mu butongole bakwasizza Ssenkulu wa BHTB Omuk. Nsubuga Najib ettaka erigenda okuwangulwa Nnaalulungi w’ebyobulambuzi mu Buganda 2026, empaka ezikomekkerezebwa nga 12/06/2026 ku Hotel Africana.

Omuk. Najib Nsubuga, nga akwasibwa ettaka lino, atenderezza nnyo Mw. Muwanguzi olw’omwoyo gwa Buganda ogutafa n’avaayo ne banne ne bawaayo ekirabo kino ekinene eky’ettaka ly’ekyapa erigenda okutwalibwa oyo agenda okuwangula empaka za nnalulungi w’ebyobulambuzi erisangibwa e Katende ssaza Mawokota.

Ye Mw. Muwanguzi yebazizza nnyo Obwakabaka okuyita mu kitongole kyabwo eky’ebyobulambuzi okukkiriza ekirabo kye bawaddeyo eky’ettaka lino era asabye abantu ba Ssaabasajja Kabaka okujja okwefunira ettaka eritalina buzibu bwonna ku ssente ensamusamu ate nga ne kibanjampola akkirizibwa.

Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka empaka zino, Kyagulanyi Shafik yebazizza nnyo aba New Destiny Property Services okuvujjirira enteekateeka eno mu maanyi amangi gano, era wano akunze abaana abawala mu masaza gona 18 okuvuganya n’obumaliririvu olwo basobole okwewangulira ettaka lino kubanga kino kirabo kya njawulo nnyo.

Ssentebe bwatyo akunze abantu ba Kabaka abalina amakkampuni oba ebitongole okuvaayo okujja okuvujjirira enteekateeka y’okunonya nnalulungi w’ebyolambuzi mu Buganda bwatyo akinoganyiza nti okuwagira empaka oba owagidde Obwakabaka mu kawefube gwe buliko okutumbula eby’obulambuzi munsi yonna.

LANGUAGE