Abavubuka bannamutimbagano (TikTokers) bakiise Embuga

Amawulire Apr 28, 2026
Share This

Bya Gladys Zawedde

Abavubuka bannamutimbagano (ba TikTokers), bakiise Embuga okulaba bwe basobola okukolagana n’Obwakabaka mu mirimu gye bakola.

Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga Ssaalongo y’asisinkanye abavubuka bano baabuulidde ku nteekateeka y’Obwakabaka eya Situla Omutindo omuli ennyingo y’okutumbula ebitone naddala mu bavubuka wamu n’okutumbula obusuubuzi n’emirimu emirala abantu gye bakola.

Bannamutimbagano bano babuulidde Minisita nti baagala nnyo obuwangwa bwabwe era benyumiriza mu Bwakabaka bwa Buganda nga eno y’ensonga eyabasindiikirizza okukiika Embuga balabe bwe basobola okwenyigira obutereevu mu nteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo nga bazitumbula nga bakozesa emitimbagano gyabwe ate nabo okuzeetabamu obutereevu.

Bano abawadde obweyamu nti Obwakabaka bujja kukolagana nabo okulaba mu nteekateeka ez’enjawulo era abeebazizza olw’okutegeera obuvo bwabwe.Ensisinkano eno ebadde mu Bulange e Mmengo.

LANGUAGE