Bya Gerald Mulindwa
Dollar 10,480 ze zisondeddwa mu kijjulo kya Bbinu Ssese mu nteekateeka y’okugula eddwaliro ly’okumazzi liyambeko abantu ba Kabaka mu bizinga by’e Ssese okufuna obujjanjabi obwannamaddala.

Ekijjulo kino kitegekeddwa Essaza West Coast America (Northern California _San Francisco ne Nevada) era lye likulembeddemu kaweefube w’okunoonya ensimbi eziri wakati w’emitwalo gya ddoola 195,000 ezetaagibwa obutasukka mwezi gujja ogwa Muzigo (May) olwo Rotary international esseeko ezisigadde.
Ab’Essaza West Coast America, kaweefube w’okunoonya ensimbi bamutembeetera mu kibiina ‘Buganda Amakula’ nga bali wamu ne Rotary club y’e Antioch, Rotary club y’e Ssese ne gavumenti ya Kabaka.
Dr. Paul Kiruuta, omumyuka w’omubaka wa Kabaka Ow’essaza West Coast America, akunze bannayuganda n’abazira kisa okuvaayo bawagire enteekateeka eno ku lw’obulamu obulungi obw’abantu b’e Ssese.
Ensimbi zino omuntu asobola okuziyisa mu Centenary bank ku account; 3100119730.
Eddwaliro eriseyeeya libalirirwamu ddoola za America 446,489, nga lya kuyamba abantu abasoba mu mitwalo kkumi.

Rotary international yakkiriza okukwatizaako aba Buganda Amakula, Rotary ye Antioch, ne Rotary club ye Ssese, okuggusa enteekateeka eno n’ekigendererwa eky’okufunira abantu abawangaalira ku bizinga by’e Ssese obujjanjabi obwannamaddala okusobola okutumbula embeera y’ebyobulamu.