Bya Gerald Mulindwa
Buddu
Kaweefube ono amututte mu ggombolola Ssaabawaali Bukoto etwalibwa omwami wa Kabaka Bena Nampijja era mwasiibye nga abunyisa engiri y’okusitula omutindo gw’Amaka. Alambudde abalimi okuli; Sseremba Patrick, Hajjat Kasujja Akiiki, ne Rasta Julius Mwebe e Kasanje Kabonera.

Mu kwogera kwe mu maka ga Julius Mwebe, Katikkiro awabudde nti ebirungi bitandikira mu buvubuka, era omuvubuka takkiriza kuterebuka, abeera n’amaanyi agakola emirimu, teyeebakiriza, agamba nti ebintu byetubeera nabyo nga tukuze byebyo byetukungula nga biva mu nteekateeka zetukola mu buvubuka. “Tetwagala bya linda kiggweyo”, era waliyo abajuliza nti ebintu banaabikola nkya, eby’enkya ne leero bisoboka okukolebwa.
Kamalabyonna ayagala buli muvubuka wanaawereza emyaka 30, nga aliko byasobola okwekolera. Wabula bano abasabye baleme kutya kutandika naye bafune obuvumu obunaabatuusa ku buwanguzi.
Katikkiro era alambudde Amaka amateeketeeke obulungi, aga Namwandu Hajjat Akiiki Kasujja e Kabonera, eyaviibwako omwami we kati emyaka 26 nga afudde. Amaka gano galimu ekyoto ekikekkereza Enku, oluggya luyonjo, webooleza ebintu wategekeddwa bulungi, amazzi aganaabibwa mu ngalo nga ovudde mu kabuyonjo weegali, alunda enkoko, era asobodde okusomesa abaana be era bonna baatilkirwa digiri ey’okubiri.
Katikkiro yeebazizza Hajjat Akiiki Kasujja obuteekubagiza okufiirwa omwami wabula n’alemerako n’asobola okuyimirizaawo amaka ekimusobozesezza okutuuka ku buwanguzi. Asinzidde wano n’akubiriza abantu ba Bugana okwenyigira mu bibiina by’obwegasi basobole okukulaakulanira awamu n’okugoba obwavu nga Hajjat Kasujja bweyakola ekimuyambye okukuuma ekitiibwa ky’Amaka ge nga kitinta.
Minisita wa bulungibwansi, obutondebwensi n’Ekikula ky’Abantu, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, asinzidde mu maka ga Hajjat Kasujja n’agamba nti okusitula omutindo mu maka kutandikira ku bakyala, bw’atyo n’akubiriza abakyala bafube nnyo okunyweza omutindo gw’endabika y’Amaka gaabwe.
Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone, Ssaalongo Sserwanga Robert, kaweefube w’okugobwa obwavu amwolekezza bavubuka b’agambye nti singa batwala obudde ne bakoppa abalimi abalina webatuuse, nabo basobola okufuuka ab’omugaso eri eggwanga.
Omwami w’Essaza Buddu, Pookino Oweek Jude Muleke yebazizza Katikkiro olw’enteekateeka ya mmwanyi terimba esitudde embeera z’abantu n’okugoba obwavu.
Minisita w’Obulimi Obulunzi obuvubi n’obwegassi, Oweek Hajji Amisi Kakomo Mukasa, yebazizza omulimi Rasta Julius Mwebe okukola ennyo obuteebalira n’awa abavubuka eky’okulabirako nti omulimo ogumu guba mutego era kikulu okukola emirimo egy’enjawulo okusobola okugaggawala.

Abalimi baalambudde, Katikkiro abakwasizza omuzinga ogubeeramu enjuki era asimbye omuti omutuba okusobola okuwa emmwanyi ekisiikirize ekimala.