Bya Miiro Shafik
Kigo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga agamba nti ky’ekiseera abakugu mu byenjigiriza okutuula wansi bakkaanye ku nsoma entuufu enaasobola okubbulula ebiseera bya Uganda eby’omumaaso naddala nga ennimi enzaaliranwa zisoosowazibwa.

“Ebyenjigiriza ky’ekimu ku bintu ebisinga okusoomooza amawanga ga Africa. Mu Africa ensi nnyingi zirina enteekateeka ez’enkulaakulana nnyingi nga okuzimba enguudo, amakolero, ebisaawe by’ennyony, okusikiriza bamusiga nsimbi n’ebirala, birungi naye ensonga enkulu kwandibadde kusoosowaza bya bulamu n’ebyenjigiriza ebituukana n’embeera zaffe olwo ne tusaba amaaso ku mirimu abantu abasookerwako gye bakola kyanditutte ebbanga ttono okukyusa ssemazinga wa Africa” Katikkiro Mayiga.
Bino abyogeredde Kigo mu ggombolola Makindye Ssaabagabo mu Ssaza Busiro ku mukolo Omwami w’Essaza Bulemeezi, Kkangaawo Owek. Dr. Ronald Mulondo kwe yebalizza Katonda n’okujaguza olw’okutikkirwa ddigiri ey’okusatu mu byenjigiriza gye yafuna okuva ku Makerere University nga 24 Mukutulansanja 2026.
Omukolo guno gutandise n’ekitambiro kya mmisa ekikulembeddwamu Vicar General wa Kampala Archdiocese Msgr. Rogers Kabuye Mukasa nga ono y’akiikiridde Ssaabasumba Paul Ssemoogere ate nga ye Vica General w’e Kasana Luweero Msgr. Vincent Mukiibi y’akulembeddemu okubuulira. Mu kubuulira kwe ayozaayozezza Dr. Ronald Mulondo olw’ekkula ly’okukonola ddigiri ey’okusatu era n’amusabira Katonda amagezi g’amuwadde agamuteeremu omukisa gagase eggwanga era gabale ebibala.
Mu kwogera kwe, Katikkiro Charles Peter Mayiga ayozaayozezza Kkangaawo Ronald Mulondo olw’okufuna ddigiri ensukkulumu era n’akiggumiza nti Kabaka yetaaga abantu abayivu okusobola okuzza Buganda ku ntikko. Annyonnyodde nti mu nkiiko zonna ezituuzibwa ku mutendera gwa Kabineeti, ku Masaza n’awalala, abantu abakenkufu beetagisa okuwa ebirowoozo ebizimba Buganda.
Katikkiro Mayiga ategeezeza nti n’abantu abaddukanya amasomero n’amatendekero aga waggulu basaanye okubeera n’obukugu mu byenjigiriza nga kino nakyo kya kuyamba nnyo okubbulula eggwanga, asabye abavunanyizibwa okufaayo ku basomesa okubeera abatendeke ekimala ate nga basasulwa bulungi.
Kamalabyonna Mayiga yebazizza Kkangaawo okukola emirimu gya Kabaka n’amusaba okuwa obuwabuzi obunaakyusa endaba y’abantu ku bisomesebwa.
Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko ayozayozeza nnyo Kkangawo Dr. Ronald Mulondo era n’ategeeza nti nga Minisitule y’enkulaakulana y’abantu mu Bwakabaka baakweyambisa obukugu bwa Dr. Mulondo okutumbula ebyenjigiriza nga bayita mu kutegeka ensiisira z’ebyenjigiriza, n’emisomo emirala okuyamba emiti emito okugabana ku bukugu bwa Dr. Mulondo n’abamufaanana.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Kawuki ategeezeza nti obuwanguzi bwa Owekitiibwa Mulondo bw’oleka obusukkulumu obusobola okutuukibwako singa omuntu abeera mumalirivu. Yebazizza omujaguza olw’okumalirira okusoma eddala lino ate nga bw’akola emirimu gya Kabaka, egigye egy’obuntu wamu n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’amaka. Amukuutidde obuyivu bw’atuuseeko buleme kulabikira mu kujaguza kwokka wabula ne mu nkola y’emirimu, agikole nga Omwami wa Kabaka omuyivu ddala.

Omujaguza Owek. Dr. Ronald Mulondo ategeezezza nti olugendo lw’okufuna ddigiri ensukkulumu terubadde lwangu kyokka obuwagizi bw’afunye okuva eri abantu bonna abamwetoolodde, wamu n’okugumiikirizibwa bakama be mu bukulembeze bw’Obwakabaka wamu ne mu maka byamuwanirira okuggusa ekiruubirirwa kye eky’okukuga mu byenjigiriza n’okunonyereza.
Dr. Mulondo ategeezezza nti waliwo okusoomooza kwa maanyi ddala mu byenjigiriza mu Uganda era nga kyetaagisa abakugu okuwabula Minisitule y’ebyenjigiriza okutereeza mu nsonga ez’enjawulo okulaba nti waliwo ebikyuka. Ategeezezza nti ekimu ku bisinga okukosa ebyenjigiriza mu Nsi yattu Uganda lwe lulimi abaana mwe basomesezebwa.
“Mu Nsi nga Germany, China, Japan n’endala abaana basomesebwa mu nnimi za Nsi ezo, ne bwe biba bisomesebwa nga bya ssaayansi bisomesebwa mu nnimi nzaaliranwa, era kino kiyambye nnyo ensi zino okukula. Waliwo language policy eyayisibwa mu 1997 kyokka okuva olwo tewali kyali kibaddewo, nawalirizibwa okukola okunonyereza era waliwo ebiwandiiko byenkoze ne mbiteeka ne ku mutimbagano ku ngeri gye tusobola okukyusaamu ensomesa yaffe” Dr. Mulondo.
Owek. Mulondo asabye bonna abavunanyizibwa okulaba nga ensonga ez’ekikugu zikwasibwa abakugu era agamba ye okwolesebwa kwe kwa kulaba nti ensonga y’okukyusa ebisomesebwa okudda mu nnimi ennansi nga kitandikira ku baana ne ba Maama awaka kubanga olulimi we lutandikira okuyigirwa. Asuubiza okukozesa amagezi g’afunye okugagabanako mu mbeera zonna ezeetaagisa okukyusa eby’ensoma mu Uganda.
Ssentebe w’olukiiko olukulembedde okutegeka omukolo guno Dr. James Kyeyune Ssenyonjo nga naye alina PHD, aliko ebyafaayo ebikwata ku ddigiri ey’okusatu eno by’abulidde abagenyi ku mukolo guno, okuviira ddala ku ngeri gye yatandikibwawo, abantu abaasooka okutuuka ku ddala ly’obuyigirize buno, n’abalala abazze bagifuna n’ebibalo nga bwe biri era alaze nti eno temala gafunibwa kubanga yetaagisa obumalirivu n’okwewaayo.
Dr. Kyeyune agamba Dr. Mulondo nga omuzira mu bazira asoose okufuna ddigiri eno ensukkulumu annyikizza enteekateeka y’Obwakabaka ey’okusitula omutindo Obwakabaka gye bwatandika. Agamba nti Kkangaawo Mulondo asitudde ekitiibwa ky’Obwami mu Ssaza Bulemeezi era afuuse kyakulabirako kirungi eri Abaami ba Kabaka abalala. Amwebazizza obumalirivu obw’okusoma ate ng’akola n’obuvunanyizibwa obulala naddala obw’essaza Kabaka lye yamukwasa.

Abooluganda lwa Kkangaawo okubadde mukyala we Noel Nakanwagi Mulondo n’abaana nabo bayoozayozeza nnyo Dr. Mulondo olw’ekkula Katonda lye yamutuusaako, ne bamwebaza nti newankubadde okusoma ddigiri eno kutwala obudde wamu n’okubaamu okusoomooza, naye abaddewo ebbanga okuwagira amaka ge mu mbeera zonna.
Omukolo guno gwetabiddwako Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Baminisita ba Kabaka, Abaami b’Amasaza, Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko, Bassenkulu b’ebitongole, Bannaddiini, Bannabyabufuzi, Abooluganda n’abagenyi abalala bangi ddala.