Bya Miiro Shafik
Kasana, Luweero – Bulemeezi
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek. PDG. Robert Waggwa Nsibirwa akunze abantu okwongera okwegatta ku kibiina kya Rotary bakolere wamu okusobola okunnyikiza omulamwa gw’okuyamba abali mu bwetaavu.

Okwogera bino asinzidde Kasana Luweero ku mukolo kw’atuulizza Pulezidenti omuggya owa Rotary Club of Kasana Luweero Rtn. James Billy Matovu azze mu bigere bya Hajj Yusuf Kamulegeya.
Hajj Yusuf Kamulegeya mu kwogera kwe ng’awaayo obuyinza, alambuludde ebimu kw’ebyo bye basobodde okukola mu mwaka gw’amaze ng’akulembera kiraabu eno, mu by’anokoddeyo kwe kuli okuzimba enju ya bisenge 4 eri omwami aliko obulemu ku mikono gye, okugula obugaali omutuuzibwa abakyala abagenda okuzaalira mu ddwaliro lya Luweero Hospital. Ono yebazizza bonna baakoze nabo okulaba nga baliko bye basobodde okukola mu kiseera ekyo. Ono asabye amudidde mu bigere okwongera okunnyikiza ensonga y’okuyamba abantu b’ekitundu abali mu bwetaavu.
Ye Pulezidenti omuggya Rtn. Billy James Matovu yebazizza Katonda olw’olugendo lw’amutandisizza, ategeezeza nti ku lw’ekiruubirirwa kya Rotary ekikulu eky’okuyamba abantu, mu mwaka guno bagenda kusoosowaza okutereeza eddwaliro lya Kigombe Health Center II ly’agambye lirimu ebikozesebwa bitono ddala bw’ogeraageranya n’omuwendo gw’abantu abaligendamu. Ategeezeza nti basuubira okufuna ensimbi ezisoba mu bukadde 50 okulaba nti bakulaakulanya eddwaliro lino, basabe ne gavumenti liteekebwe ku mutendera gwa Health Center III.
Rtn. Billy era ategeezeza nti wadde balina okuyamba abo abali mubbwetaavu, nabo bennyini balina okwekolamu omulimu okwesitula n’okwewagira mu nsonga ezitali zimu era ono agamba nti bagenda kuteekawo ensawo mu kibiina ewanirira bammemba mu nsonga ezitali zimu.
Owek. Nsibirwa asinzidde ku mukolo guno n’ajjukiza banna-Rotary obuvunanyizibwa bwe balina obukulu obw’okulaba nti abantu ababeetolodde bali mu mbeera eyeyagaza, bwatyo n’abakuutira okwongera okuteeka omulaka mu kukyusa embeera z’obulamu bw’abantu naddala abo abali mu bwetaavu.
Oweek. Nsibirwa era asabye bannaluweero wamu ne bannayuganda okutwaliza awamu okubeegattako okudaabulula obulamu bwa bannansi obuli mu ddubi, nga bayamba abo abali mu bwetaavu n’ensonga ez’enjawulo ezeetaga okukwatako. Asanyukidde enteekateeka gye balina okusitula omutindo gw’eddwaliro lya Kigombe Health Center II.
“Rotary etuwa omukisa okuddiza ebintu mwetusula, mwe tuggya ssente, era mwe tuwulirira emirembe, kyokka tulina okukolera awamu kubanga buli lwe tukola nga tuli bangi, tukola binene oba oli awo omuntu omu by’atandisobodde kukola, kale nkunga abantu okweyunga ku Rotary tukyuse ebitundu byaffe” Owek. Nsibirwa.

Owek. Nsibirwa akulisizza Rtn. Billy James Matovu okutuuka ku buvunaanyizibwa buno, ne yebaza ne Pulezidenti awummudde Hajj Yusuf Kamulegeya olw’obuweereza bw’akoze mu kiraabu eno.
Owek. Nsibirwa taleseeyo kukubiriza Bannabulemeezi okunyiikira okukola, bave mu bwavu, abasabye ne ssente ze bafuna bazikolemu emirimu egibagasiza awamu ng’abantu b’ekitundu. Abajjukiza n’obulwadde bwa mukenenya nti bukyaliyo era basaana okwekuuma babeere balamu bulungi.
Ku mukolo guno, Owek. Nsibirwa ayingizza abantu bana (4) mu Rotary Club of Kasana Luweero era abasabye okunywerera mu kibiina kino, ate baleete n’abantu abalala kyongere okukula, kibagasize wamu ng’abantu n’ekintundu kyabwe.
Rotary Club of Kasana Luweero yatandikibwawo mu 2020 era Rtn. Billy James Matovu ye Pulezidenti wa kiraabu eno ow’omusanvu, mu kiseera kino erina bammemba abasoba mu 60.
