Bya Miiro Shafik
Kyango – Mawokota
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza obubaka obw’okusaasira eri ab’Ekika kya Kasimba, wamu n’Abooluganda lw’abadde Omukulu w’Ekika kya Kasimba Omutaka Kabazzi Omubuze Miti Ssempuuma David eyabula ku Lwokubiri nga 02/06/2026.
Obubaka bwa Kabaka busomeddwa Minisita wa Kabineeti, Olukiiko, Abagenyi n’Ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro Owek. Noah Kiyimba eyetabye mu kutereka Omutaka ku butaka bw’Ekika e Kyango mu Mawokota.

“Twawulidde n’ennaku nnyingi amawulire ag’okufa kw’Omutaka Kabazzi Ssempuuma David Miti. Kitalo nnyo! Tusaasidde nnyo Namwandu, bamulekwa, ab’oluganda, abako n’emikwano olw’okufiibwako omukulu ono. Mu ngeri y’emu, tukubagiza Ekika ky’Akasimba olw’okufiibwako Jjajjaabwe Mu ngeri ey’enjawulo, tusaasira Abataka Abakulu ab’Obusolya olw’okufiirwa muganda waabwe.” Ssaabataka Mutebi II.
Omuteregga agamba nti omubuze abadde muwulize eri Nnamulondo era ng’atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe.
“Omugenzi abadde muwulize eri Namulondo era atukirizza obuvunanyizibwa bwe mu Bwakabaka wamu n’okukulembera bulungi ekika ky’Akasimba.Twebaza abo bonna abamujjanjabye n’okumulabirira mu kiseera ky’amaze nga mukosefu”. Kabaka Mutebi II.
Nnyinimu yebazizza Katonda olw’obulamu bw’awadde omubuze ne byonna bye yamukozesa, n’asaba Mukama agumye abasigaddewo mu buyinike bwe balimu n’Omugenzi amuwe ekiwummulo eky’emirembe.
Ye Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba obubaka bwe abutisse Katikkiro w’Ekika kya Nnyange, Kato Lutuuma Fenekansi. Mu bbwo, asaasidde nnyo Ssaabataka olw’okuviibwako omuntu ow’embala abadde omuvumu era omwetowaze.
“Bajjajja Abataka Ab’obusolya Abakulu b’Ebika mu Buganda, tujjudde okunyolwa n’obuyinike olw’okufiirwa Omutaka ow’omugaso ennyo. Omutaka Kabazzi David Nampuuma Miti, aweerezza n’obuvumu, obwetowaze era n’okwagala mu kika kya Kasimba ne mu Lukiiko lw’Abataka b’Obusolya mu Buganda. Kitalo nnyo! Tusaasidde nnyo Mukama waffe SSAABATAKA SSAABASAJJA KABAKA olw’okufiibwako Mussaajjawe eyenkanaidde awo! Gutusinze ayi Beene.Twongera okusaasira n’okugumya Abeekika ky’Akasimba, namwandu, ab’oluganda b’omugenzi, n’abantu ba Katonda ababuna wonna. Kitalo ddala.” Omutaka Namwama.

Ye Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi, n’Ebyokwerinda Owek. Anthony Wamala, obubaka bwe obusomeddwa akuuma entebe ya Kayima Hajj Hassan Kasujja, yebazizza Katonda olw’obulamu bw’abadde omubuze, yebazizza ab’enju ye abamuwagidde mu mirimu gy’aweereza Ekika kye n’Obwakabaka. Ayongeddeko nti Omubuze Miti Ssempuuma alese eddibu ddene era obuweereza bwe bujja kusubwa nnyo.
Mu kutereka Omutaka Kabazzi omubuze Miti Ssempuuma David, ate amudidde asikidde obukulu bw’Ekika Kya Kasimba era mutabani w’omubuze Omutaka Kabazzi omubbulukuse Miti Ceaser Buyondo atuuziddwa okutwala Ekika mu maaso.Omukolo gw’okuwerekera Omutaka gwetabiddwako abazzukulu b’Ekika kya Kasimba bangi ddala, abooluganda n’emikwano gy’omugenzi n’abantu abalala bangi.