Abavubuka mufeeyo nnyo ku byenfuna, mwewale okudiibuda ssente – Minisita Kazibwe Kitooke

Amawulire Jun 05, 2026
Share This

Bya Miiro Shafik

Kampala – Kyaddondo

Terefayina y’Obwakabaka BBS etegese olukuŋŋaana lw’ebyenfuna n’obusuubuzi ku Sheraton Hotel mu Kampala, olwetabiddwamu ebitongole ne kkampuni ez’enjawulo okukubaganya ebirowoozo ku by’obusuubuzi n’ebyenfuna mu ggwanga.

Olukuŋŋaana luno lutuumiddwa BBS Business Forum 2026 era lwelusookodde ddala, bannabyanfuna ab’enjawulo mu ggwanga mwe basinzidde okukubaganya ebirowoozo ku byenfuna by’eggwanga bwebiyimiridde okwo saako okwefumitiiriza ku biki ebinabeera mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2026/2027 egenda okusomebwa ssabbiiti ejja.

Mu lukuŋŋaana luno, Minisita w’Amawulire n’okukunga abantu era Omwogezi w’Obwakabaka ggwanga Owek. Israel Kazibwe Kitooke mw’asinzidde n’akubiriza abavubuka okuyiga okutereka ensimbi bazikolemu ebintu eby’omugaso okusinga okuzidibuuda mu bintu ebitasaana.

Minisita Kazibwe mu kwogera kwe essira alitadde nnyo ku kwekulaakulanya era n’avumirira engeri abavubuka gye boonoona ensimbi mu bintu ebitalina mugaso ekibasubidde mu nvubo y’obwavu. Bwatyo n’abasaba okweddako n’okwefumiitiriza ennyo ku bye bamalirako ensimbi zaabwe.

Minisita Kitooke era annyikizza enkola ya Situla Omutindo, Obwakabaka gye butambuza mu bantu ennaku zino, gy’agamba nti erimu ebirungi bingi ebiyamba omuntu okwekulakulanya, ategeezeza nti singa buli muntu agatta omutindo ku by’akola kitegeeza n’ebiva mu bikolebwa biba bya mutindo, ekiyamba mu kutumbula okuvuganya mu katale n’enkulaakulana okutuukibwako.

Owek. Israel Kazibwe Bitooke – Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka

Ye Ssenkulu wa BBS Terefayina, Omuk. Patrick Ssembajjo mu kwogera kwe lukungaana luno, ategeezezza nti emirundi mingi gavumenti efulumya embalirira naye Bannayuganda balemererwa okutaputa amakulu agalimu n’engeri ensimbi eziteekebwamu gye zisengekebwamu nga kye kyabaviirako okutandikawo olukuŋŋaana luno batemeteme byonna ebisuubirwa okulabikiramu, abantu basobole okutegeera embalirira y’eggwanga kubanga ebakwatako butereevu. Ategeezezza nti luno lwakubeerangawo buli mwaka era yebazizza bonna ababeegasseeko okulaba nga ebiruubirirwa by’olukuŋŋaana luno bituukirizibwa.

Bannabyanfuna n’abasuubuzi okuva mu bitongole eby’enjawulo bakira bawa endowooza zaabwe ku ngeri gye balaba ebyobusuubuzi n’ebyenfuna bwebiyimiridde mu bitongole eby’enjawulo n’eggwanga okutwaliza awamu. Bano babangudde abantu ku kusiga ensimbi ssaako okuwandiisa bizinensi mu makubo amalambulukufu nga beeyambisa enkozesa y’omutimbagano.

Abalimi ababadde boota obuliro olukuŋŋaana luno, balabika nga bavuddewo n’essanyu lya nsusso, anti abakugu mu by’obulimi babategeezezza nti singa bagaziya obwongo bwabwe, empaka za AFCON ezijja wano mu Uganda, Kenya ne Tanzania omwaka ogujja 2027, bajja kuyooleramu ensimbi, era abasuubuzi babangudde ne ku migaso gy’okulima emmwanyi.

Bingi n’ebikira ku bino, ebikubaganyiziddwako ebirowoozo era nga BBS Business Forum tekomye mwaka guno, nga yakubangawo buli mwaka n’ekigendererwa eky’okuyamba abantu ba Ssaabasajja okutumbula eby’obusuubuzi n’ebyenfuna byabwe ng’abakugu bayita mu kutematema embalirira n’okugitaputa mu ngeri etegerekeka eri omuntu wa bulijjo.

Abakugu mu byenfuna okuva mu bitongole eby’enjawulo, abasuubuzi, abakozi mu gavumenti, n’abakwatibwako ensonga z’ebyobusuubuzi olukungaana luno tebalutumidde mwana okuli abavudde mu KACITA, URSB, KCCA, PSFU, NACORi, n’ebirala.

BBS Terefayina, nayo mu lukungaana luno lwewomyemu omutwe, ekiikiriddwa agikulira Omuk. Eng Patrick Ssembajjo, Akulira entambuza y’emirimu Steven Dunstan Busuulwa, Akulira ba kitunzi Alex Katende Biriggwa, akulira ekitongole ky’amawulire Peter Muweesi n’abakozi, Akulira abakozi Nakabugo Nassim n’abalala ate nga Minisita w’ebyamawulire mu Bwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke yabadde omugenyi ow’enjawulo.

LANGUAGE