Enteekateeka ya Muvubuka Yoyoota Eggombolola etongozeddwa

Amawulire Jun 05, 2026
Share This

Bya Jjuuko Huzairu Wasajja

Gombe – Kyaddondo

Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga Ssaaloongo atongozza enteekateeka eyayanjulwa aba Buganda Youth Council eyatuumibwa Muvubuka yooyoota eggombolola.

Enteekateeka eno agitongolezza mu ssaza Kyaddondo ku mbuga y’eggombolola Ssaabawaali Gombe, ku mukolo okubadde n’okulayiza abakulembeze b’abavubuka mu ggombolola Ssaabawaali Gombe ab’omuluka gw’e Migadde.

Minisita Serwanga asinzidde wano n’akubiriza abavubuka okubeera ab’obuvunanyizibwa mu nkola yabwe ey’emirimu, ng’agamba nti ku bbo, Obwakabaka kwe bwesigamizza byonna ebikolebwa nga bwe kyayanjulibwa gye buvuddeko mu lusirika lw’abakulembeze mu Bwakabaka mu 2025.

“Omuvubuka ow’omulembe Omutebi, olina okubeera omuyigirize nga wayitako mu ssomero, ng’olina ne ky’osobola okukola, oteekwa okubeera omulamu era omuvubuka tolina kubeera ngalo bunani buli kyokola kikole na mutindo nga enkola y’Obwakabaka bweri ey’okusitula omutindo, musitule omutindo mu buli kye mukola” Minisita Serwanga.

Mu mbeera y’emu Minisita akubirizza abavubuka okuwuliriza n’okussa ekitiibwa mw’abo ababasinga ku myaka wamu ne bakadde baabwe ng’agamba kino kijja kubayamba okufuna emikisa mu buli kyebakola.

Owek. Serwanga aliko n’entanda gy’asibiridde abakulembeze abakubye ebirayiro, abasabye okuweereza Ssaabasajja Kabaka n’omutima gumu awatali kumutiiririra.

“Mwe abakulembeze abakubye ebirayiro byamwe olwa leero mukimanye nti obukulembeze bwe mufunye temuzze mu kusaaga mukole emirimu gya Ssaabasajja Kabaka n’omutima gumu, omukulembeze omulungi olina okwewala ebyo ebinyiiza era tolina kunyiiganyiiga n’olwekyo mbasaba mukole ekyo ekyataagisa okutuukiriza obuvunanyizibwa obubaweereddwa” Minisita Serwanga.

Minisita era ajjukiza abavubuka omwoleso gwa CBS PEWOSA ogubindabinda era n’abasaba okujjumbira omwoleso guno nga boolesa bye bakola wamu n’okufunayo amagezi aganaabayamba okwekulaakulanya.

Ye Omwami w’essaza Kyaddondo Hajji Ahmed Magandaazi Matovu Kaggo, asanyukidde nnyo enteekateeka ya yooyoota eggombolola naddala, olw’okutandikira mu ssaza ly’akulembera Kyaddondo.

“Nneebaza nnyo Maasomoogi olw’okusiima enteekateeka eno etandikire e Kyaddondo era nga bwe kimanyiddwa nti Kyaddondo lye ssaza Ssaabaddu wa Buganda, nneebaza abavubuka okwewaayo ne batandika enteekateeka eno era ffe abakuliridde mu myaka tuli bagumu kubanga tufunye abagenda okutusikira” Kaggo Magandaazi. Onoasabye abavubuka okunyiikira okukola ennyo kubanga teri agenda kubawa kintu kyonna nga bya bwereere.

Omwami w’eggombolola Ssaabawaali Gombe Sserugo Eric yebazizza abavubuka olw’enteekateeka eno gye batandise ate n’esookera ku ggombolola ye, yebazizza bannamukago bonna abakwataganye n’abavubuka okukola omulimu guno naddala aba Rejoice Paints abawaddeyo langi wamu n’abalala bonna abaliko kye bakoze.

Ssentebe w’Olukiiko lw’abavubuka ttabamiruka (Buganda Youth Council), munnamateeka Derrick Kavuma akubirizza abavubuka okwongera okusoosowaza enteekateeka eno era n’asaba abakulembeze bano abalayiziddwa okubunyisa enteekateeka eno mu byalo byabwe wamu nemiruka kiyambe okuwa abavubuka ekyokulabirako n’okubalaga obuvunaanyizibwa bwabwe mu kuzimba Buganda gye baagala.

Minisita mu nteekateeka eno alambuziddwa ekkakalabizo ly’abavubuka erisangibwa ku mbuga y’essaza Kyaddondo era wano asimbye n’omuti egw’ekijjukizo.

Omukolo guno gwetabiddwako ow’eggombolola Ssaabawaali Gombe Omw. Sserugo Eric, omukwanaganya w’Abavubuka mu Buganda Oweek. Kiyemba Hassan, Mmeeya wa ggombe division, abakulembeze ba Buganda Youth Council n’abantu abalala bangi.

LANGUAGE