Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda ne gavumenti beetegefu okukolera awamu okulaba nga omuntu wa bulijjo aganyulwa
Bino bituukiddwako mu nsisinkano ya Baminisita okuva mu gavumenti ya wakati abakulembeddwamu omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga H.E Jesca Alupo, ne Kabineeti ya Kabaka ekulembeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku Bulange e Mmengo.
Katikkiro agamba Obwakabaka bwetegefu okukolagana ne gavumenti mu kisaawe ky’ebyobulamu, ebyenjigiriza, ebyobulimi, obutondebwensi, obwegassi, olwo abantu baganyulwe kubanga Ssaabasajja Kabaka atuuka ku muntu asookerwako nga ayita mu Baami be, awonno gavumenti bweba erina enteekateeka eziyamba abantu n’ekolagana n’Obwakabaka, enteekateeka ezo zijja kutuuka bulungi mu bantu basobole okuzifuna kubanga gavumenti n’Obwakabaka baweereza abantu be bamu.
Katikkiro asanyukidde ekya omukulembeze w’eggwanga okuvaayo okulwanyisa obuli bw’enguzi, n’agamba nti enguzi ekonzibizza nnyo enkulaakulana ya Uganda, n’asaba omukulembeze w’eggwanga nti bwaba akwata abali b’enguzi atandikire ku banene bakangavvulwe olwo bano aba wansi bajja kutya n’ategeeza nti enguzi bweneekwatibwako Uganda ejja kukulaakulanira ku misinde egya waggulu.

Kamalabyonna era asabye omukulembeze w’eggwanga atereeze eby’entambula ey’olukale mu bibuga naddala Kampala olw’omujjuzo n’akalippagano akasusse kisobozese abakungu ba gavumenti n’abantu abalala okutambulira mu budde nga bagenda ku mirimu gy’e ggwanga.
Mu bubaka bw’omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni, ayagala wabeewo empuliziganya eyanamaddala n’Obwakabaka n’ekigendererwa eky’okutambulira awamu ku lw’enkulaakuana y’e ggwanga.
Omumyuka w’omukulembeze wéggwanga, H.E Jesca Alupo, ku lulwe yebazizza obwakabaka olw’okwaniriza n’okukyaza abantu aba buli ngeri ku Bulange mu ngeri ennungi era ey’ekitiibwa. Yebazizza Obwakabaka olw’enteekateeka ezigenderera okukyusa embeera z’Abantu naddala okubakubiriza okulima emmwanyi ekintu ekiyambye ennyo okugobwa obwavu, n’enteekateeka y’ekisaakaate kya Nnaabagereka eyambye ennyo okubangula omwana omuwala, bwatyo ne yeyama ku lwa Gavumenti okunyweza enkolagana enteekateeka zino zongerwemu obuvujjirizi.