Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Abantu ba Kabaka bakubiriziddwa okuva ku byobufuzi badde ku mirimu gyabwe nga bino bigambidwa abantu okuva mu masaza agakiise embuga mu kuleeta oluwalo okubadde Mawokota, Bugerere, Kyaggwe ne Buddu abaleese obukadde asatu mu kamu (39,310,850/-) okuwagira emirimu egikolebwa Obwakabaka.

Minisita w’olukiiko, Kabinent ne wofiisi ya Katikkiro asinzidde mu luwalo luno nasaba Abaganda okwesonyiwa eby’obufuzi ebyaaliwo omwaka nga gutandika nti kati byagwa kale essira baliteeke mu kwekulakulanya.
“Tubadde mu biseera eby’obufuzi kyokka Ssaabasajja yatukubiriza bireme okutwawula naye era gye byagweredde nga tufunyemu enjawukana ez’enjawulo, naye ebyobufuzi byonna bye tubaddemu tubitwaale nti mbuyaga era egenze tukomewo twegatte tusobole okukulakulanya ebintu byaffe” Oweek Kiyimba bwalambise .
Minisita Kiyimba akuunze abami be ggombolola bonna okumakuma abantu ba Kabaka babaze eri Kitaabwe Ssaabasajja bakole emirimu eginabakulakulanya nga Bulungi bwa nsi ekikuuma ebyaalo byabwe nga biri ku mutindo.
Minisita Kiyimba asabye abantu bonna okusitula omutindo gw’okulima nga bettanira okufukirira ebirime naddala emmwaanyi kuba sizoni zakyuka nti singa omulimi afukirira asobola okubaza sizoni ezisukka mubiri. Ono akubiriza abalimi okusima enzizi baleme kukosebwa musana okutuuka n’okwonoona ebirime byabwe byonna okubimalawo obumazi.
Minisita wa gavumenti ez’ebitundu Joseph Kawuki akuunze abantu bonna okwetaba mu bulungi bwa nsi eyatongozebwa gavumenti gye buvuddeko owabuli mwezi nga kino alaze nti kyakukyusamu ku mbeera y’obuyonjo mu byaalo bya Kabaka.
Oweek Kawuki asabye abantu ba Kabaka okwetegekera olunaku lwa masaza ne bulungi bwa nsi olugya mu maaso nga bakola emirimu emirungi egy’oleka okugyaguza emiramwa egyo.
Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza Mawokota Hajji Hassan Kasujja Kagga asabye abaami be ggombolola okunyikiza enkola y’oluwalo eyatongozebwa era bagigoberere kuba esisitira ku miruka n’obutongole. Ono abasabye okwewala ebisomooza byebasanga naddala ebiretebwa bannabyabufuzi.

Eggombolola ezikiise ze Ssabawaali Nkozi 12,000,000/-, Mumyuka Kayunga 11,670,000/-, Mutuba 7 Kawolo 7,450,000/-, Mutuba 7 Lwengo 8,350,000/-.