Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Munnamawulire omukubi w’ebifananyi mu maka ga pulezidenti Abu Mwesigwa ayanjulidde Katikkiro Mayiga ekitabo kye ‘Moments with Mzee’ kye yawandiise nga kiraga ebifaananyi eby’enjawulo by’azze akuba Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okumala ekiseera nga ekitabo ekyo yakisengeka n’ebifananyi ebyenjawulo ebiraga emikolo n’emirimu pulezidenti byazze akola.

Bwabadde awayaamu ne Abu Mwesigwa ku Bulange e Mmengo, Katikkiro Charles Peter Mayiga amusiimye olw’okuwandiika ku mirimu gy’azze akola kuba abali mu tuluba nga erirye ssi bangi abateeka bye bakola mu buwandiike.
“Okussa bye tukola mu buwandiike kiyamba okulaga obulungi bw’emirimu egyo kuba abali mu ttuluba nga eriryo ssi bangi abateeka bye bakola mu buwandiike ne tusobola okubiggyamu eky’okuyiga, kale kya njawulo okuggyayo emirimu gyo nga wayise akabanga n’olaga abantu nti gye gino” Katikkiro Mayiga.
Oweek Mayiga anyonyodde nti abantu balina omukisa gw’okuwandiika bwino okukira ku nsolo, nga bye bawandiise bisobola okukozesebwa nga obujjulizi nga bwe kizze kikolebwa ensi enkulu. Kino alaze nti kiyamba n’emigigi emito okumanya ebyafaayo.
Kamalabyonna Mayiga, Abu Mwesigwa amusabye okusitula omutindo ng’akola ebisinga obulungi mu mirimu gye nga takola kumaliriza bimutumiddwa kyokka kuba kiremesa enkulaakulana ne kiziŋŋamya n’emirimu kyokka nga okukyusamu n’akola omulimu gwe mu ngeri esinga okuba eya waggulu ereeta enkyukakyuka erabikako.
Minisita w’Abavubuka mu Bwakabaka Owek. Robert Serwanga Ssaalongo atenderezza Abu Mwesigwa olw’okuba ekyokulabirako ekirungi eri bavubuka banne nga mukozi mulungi eri bakaamaabe awatali kwekaanya nga ayagala ky’akola n’akikola n’omutima gwe gwonna.
Munnamawulire Abu Mwesigwa alaze nti olugendo lwe okutuuka okukola mu mwaka ga pulezidenti terubadde lwangu, nga yasooka kukolera lupapula lwa New Vision nga omukubi w’ebifananyi gye yava okutandika okukuba pulezidenti ebifananyi nga bingi bayingidde mu olugendo olwo naddala okutendereza ku buli mukolo kwatumibwa okukola
“Bwenatandika okukuba ebifaananyi negendereza nnyo kuba baŋŋamba nti ebiseera ebyo okubaawo essaawa eyo tebiriddamu kubaawo kale buli kiseera nkitwala nti kyankizo era nkitereka butiribiri” Abu Mwesigwa bwanyonyodde.
Abu Mwesigwa alaze nti obwagazi bw’okukuuma ebyafaayo n’abalijja mu maaso babisomese era babirabeko kye kyamuwaliriza okuwandiika ekitabo kino nga tebibanyumizibwa mu mboozi kyokka nga basobola n’okubirabako mu bifananyi ebitali bimu. Ono era alaze nti yayagala nnyo abantu bamanye emirimu egy’enjawulo Pulezidenti Museveni gy’akoze ku lw’olukiiko bwe nsi Uganda.
Ensisinkano eno yetabidwako baminisita; okuli Owek. Noah Kiyimba ne Israel Kazibwe Kitooke awamu nabo Abu Mwesigwa bakola nabo.
