Bya Musasi waffe
Obwakabaka bwa Buganda buzzeemu okulabula abantu aboonoona enteekateeka y’omukolo gw’okwanjula nga bateekamu obungodiira obutasaana era kino kisaana kikome mu bunambiro kubanga omukolo gw’okwanjula gulina ennono ezisaanidde okukuumwa ku lw’abaana n’abakulu abaliddawo.
Bino bibadde mu bubaka bwa Minisita wa Kabineeti, Olukiiko n’ensonga ez’enkizo mu Woofiisi ya Katikkiro, Oweek Noah Kiyimba bw’awadde abantu ba Kabaka abeetabye ku mukolo gwa Hajarah Nassiwa nga ayanjulira bakadde be omwami we Sulaiman Makumbi e Kiteredde Kiteete mu maka ga Kisekka Diriisa.
Oweekitiibwa Noah Kiyimba agambye nti ku mulembe guno abantu batandise n’okuleeta ebirabo ku buko ebipangisiddwa olw’okuba baagala okulaga amaanyi gyebawasa ekintu kyagambye nti kittattana empisa ya Buganda ey’okwanjula.
Jjajja ow’Akasolya mu kika ky’e Mpologoma, Omutaka Ssebuganda Namuguzi Elkana Lukanga, asinzidde ku mukolo guno okulabula abazzukulu mu kika ky’e Mpologoma ne Buganda yonna obutetantala kuseseetuka ku nnono ezigobererwa mu kutuuma abaana amannya.
Kulwa ba taata abazaala omwana omuwala Nassiwa Hajarah, omukiise w’essaza Busujju mu lukiiko lwa Buganda oweekitiibwa Ismail Isa Kalema, akuutidde Hajarah ne Sulaima okwesigangana eno y’engeri yokka gyebanaakuumamu obufumbo bwabwe.

Omukolo gwetabiddwako; Oweek Joseph Kawuki, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, omwami w’essaza Busujju, kasujju Israel Lubega Maaso, kasujju omuwummuze Oweek Mark Jjingo Byekwaso Keberenge II n’abalala.