Bya Gerald Mulindwa
Kyaddondo
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekateeka ebigezo by’abayizi mu Bwakabaka ki Buganda Examinations Council, kitandise omulimo gw’okugolola ebigezo by’okwegezaamu eri abayizi bonna mu ggwanga abali mu bibiina eby’akamalirizo okuli; P7, S4 ne S6, ebyakolebwa omwezi oguwedde wakati mu kwetegekera ebya Uganda National examinations board.
Bw’abadde atongoza enteekateeka eno, Minisita w’Enkulakulaana y’Abantu era avunaanyizibwa ku by’enjigiriza, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, agambye nti abasomesa balina omulimu munene okuteekateeka Ensi ekyo ky’enaabeera, omuli omusomesa, omusawo, Omukulembeze, omubazi w’ebitabo. Agamba bwe batawa kituufu n’obubonero ku muntu oyo buba tebuteredde okukkakkana bwatuuka ku mirimo yekolera byayagala.
Minisita Nakate ategeezezza nti abaana bangi bawanduka mu masomero naye abasomesa bakola kinene okusobola okukendeeza ku mbeera eno nga bawuliriza abaana, abazadde ne bamanya obuzibu webuva era nebanogera ekizibu ekyo eddagala.
Omuk. Lawrence Muwonge, Ssentebe wa Bboodi ya BECO, asabye abasomesa abeetabye mu kugolola ebigezo bino okukozesa omukisa guno okwolesa obukugu bwebalina kibayambe okusitula omutindo gw’ebyenjigiriza era bakozese omwoyo gwa Buganda ogutafa nga bagolola ebigezo bino.
Owek. Godfrey Nviiri, omuwandiisi wa Buganda Examinations Council, ategeezezza nti abasomesa 95 be bagenda okugolola ebigezo bino, n’omulundi guno Oluganda lwe lumu ku nnimi ezigenda okugezesebwa nga n’omuwendo gw’abaatuula ebigezo bino omwaka oguwedde gweyongeddeko okuva ku 1400 okutuuka 1800. Agamba n’omuwendo gw’abayizi abagezesebwa ebigezo bino gulinnye, mu kibiina eky’omusanvu omwaka 2025 baali 23500 ate 2026 nebalinnya okutuuka ku 24700.

Immaculate Nampijja, akulira Lubiri High School ettabi ly’e Mmengo, asabye abasomesa bano okugolola n’obwegendereza ebigezo bino kubanga obwakabaka bwesigamye ku bbo era tebabuyiwa.
Mu kusooka abasomesa bano basoose kuyisibwa mu musomo ogw’okubangulibwa mu nteekateeka y’ebyensoma empya (New Curriculum) era gubaweereddwa Hajara Lwanga, omukugu mu by’enjigiriza.