Omuwendo gw’abasawo abaddukira ebweru w’Eggwanga gususse, Ssaabasajja Kabaka alabudde bekikwatako

Amawulire Sep 16, 2026
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Ssaza Bugerere

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alabudde ku muwendo gw’abasawo ogususse abaddukira ebweru w’eggwanga nekirekawo eddibu mu by’obulamu by’eggwanga kyagambye nti kino kivudde ku nsako etamala.

Obubaka bwa Ssaabasajja busomeddwa Omulangira Khalifani Kakungulu bw’abadde atongoza olusiisira lw’e by’obulamu olwa Tubeere Balamu mu Ssaza Bugerere.

Omutanda agamba nti Abantu baffe bangi bafiiridde mu malwaliro gy’ebaddukira okufuna obujjanjabi kyokka abasawo abandibadde babakolerako baddukira mu mawanga amalala gyebasuubira okufuna omusala omunene basobole okwebeezaawo, wabula n’akaatiriza nti obulamu bw’abantu be bukulu nnyo eri enteekateeka z’Obwakabaka era yebazizza ekitongole ki Kabaka Foundation ne minisitule y’enkulaakulana y’abantu olwa kaweefube ateereddwa mu kutumbula eby’obulamu by’abantu be.

Ajjukizza abantu be nti; Obulwadde bwa Mukenenya, Nalubiri (Sickle cells) ne Kookolo wa katungulu mu baami abakuze mu myaka bweyongedde okwegiriisa.Mu mbeera eno, abakubirizza okwongera okwekebeza n’okweyunira abakugu okutumbula embeera z’obulamu bw’abwe.

Yebazizza Abasawo n’Amalwaliro abatambudde n’Obwakabaka, wamu n’ekibiina ekigatta abasawo abalongoosa mu ggwanga (Association of surgeons of Uganda) abazze okutuusa obujjanjabi obw’okulongoosa endwadde ezitawaanya abantu be.Omutanda era yebazizza Bannaddiini ne bannamikago abavujjiridde ensiisira zino omuli; Diamond Trust Bank ne I&M Bank, neyeebaza Mugerere n’Olukiiko lwe olw’enteekateeka eno.

LANGUAGE