Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ajjukizza abantu be ku bulwadde bwa Mukenenya

Amawulire Sep 17, 2026
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Ssaza Buvuma

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ajjukizza abantu be mu Ssaza Buvuma ku buvunaanyizibwa obwabakwasibwa ekitongole kya UNAIDS okulwanyisa mukenenya.

Obubaka bwa Nnyinimu butuusiddwa Omulabirizi wa West Buganda omuwummuze, Bishop Henry Katumba Tamale, mu kutongoza enteekateeka ya Tubeere Balamu mu lusiisira lw’ebyobulamu olutegekeddwa ekitongole kya Kabaka Foundation mu kibangirizi ky’e ddwaliro lya Buvuma health Centre 1V.

Omutanda ajjukizza ab’e Buvuma nti mu mwaka gwa 2017 ekitongole ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku kulwanyisa mukenenya ki UNAIDS kyatikka obwakabaka obuvunaanyizibwa nga kiyita mu Ssaabasajja Kabaka obw’okubeera emmunyenye y’okulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya ku Ssemazinga Africa wano mu ssaza Buvuma.

Kuno kw’asinzidde n’abakubiriza okwongera okuteeka amaanyi mu kulwanyisa n’okwekuuma akawuka akaleeta obulwadde bwa Mukenenya, abalwadde nabo bafube okumira eddagala.Maasomoogi era ategeezezza nti, waliwo endwadde endala ezitawaanya abantu be naddala akafuba, omusujja gw’ensiri n’endwadde eziva ku bucaafu, bw’atyo n’abakubiriza okwettanira abasawo okufuna obujjanjabi obw’ekikugu.

Yebazizza abasawo abakoze omulimu gw’okutuusa obujjanjabi eri abantu ba Buganda, n’Omwami w’essaza Buvuma Mbuubi n’Olukiiko lwe olw’enteekateeka eno.Ku lulwe, Omulabirizi wa West Buganda omuwummuze, era amyuka Ssentebe wa bboodi ya Kabaka Foundation, Bishop Henry Katumba Tamale, amyuka , yebazizza abasawo olw’omutima ogulumirirwa abalala abeewaddeyo okujjanjaba abantu ba Nnyinimu ku bwereere.

Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omukungu Edward Kaggwa Ndagala, agamba nti mu nteekateeka ey’ennaku ebbiri, bagenda kugema abantu obulwadde bw’ekibumba (Hepatitis B) baleme kuddamu kutawaanyizibwa mu biseera ebijja mu maaso, n’addamu okukunga abantu b’e Buvuma okwettanira olusiisira luno bajjanjabwe.

Omwami w’Essaza Buvuma, Mbuubi Micheal Mboowa annyikizza obukulu bw’okwekebeza okumanya bwoyimiridde ne kikuyamba okwetangira endwadde nga bukyali. Omubaka wa Buvuma mu Paalamenti Hon.

Migadde, asabye abantu okwekebeza baleme kulinda kulwala balyoke baddukire mu malwaliro nga n’abamu bagula eddagala eritalagiddwa bakugu ekintu ky’agambye kya bulabe.

Era Akubirizza abantu okuwayo omusaayi bataase obulamu bwabalala era bettanire yinsuwa ya Tubeere Balamu.Amyuka Akulira eby’obulamu e Buvuma (DHO) Mukwaya Mohammed, yebazizza obwakabaka bwa Buganda okubalowoozaako mu nteekateeka z’Obwakabaka zonna era n’akubiriza abalwadde abajjanjjabiddwa okuddayo bategeese abalala.

Ono alaze obwennyamivu olw’obugayavu obususse mu bantu b’e Buvuma nga n’abamu tebalina kaabuyonjo mwebakyamira akabonero akooleka ensibuko y’endwadde ezisobola okwewalibwa.

LANGUAGE