Olukiiko lwa Synod olw’obulabirizi bw’e Namirembe lutongozeddwa era lutegese omusomo wansi w’omulamwa “Okuweereza Katonda nga tosuubira Kusasulwa nsimbi “

Amawulire Sep 17, 2026
Share This

Bya Jjuuko Huzair Wasajja

Namirembe – Kyaddondo

Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga atongozza olukiiko lwa Synod olw’obulabirizi bw’e Namirembe mu musomo ogutegekeddwa wansi w’omulamwa ogugamba nti “Okuweereza Katonda nga tosuubira Kusasulwa nsimbi”

Katikkiro mu kwogera kwe annyonyodde obukulu bw’obuwereza nga emu ku mpagi eri mu mulamwa ogwo waggulu.

“Obuweereza kwe kukola omulimo ogugasa abalala era we butali, tewali kugenda mu maaso. Obumativu bwofuna kikusaako omuwendo era kye kiraga ekyo ekiri ku meeme y’omuntu” Katikkiro.

Katikkiro akulisizza abakulembeze bano okutuusibwa ku daala ly’obuweereza eta nabeebaza okubukkiriza wadde nga ssi bwa nsimbi, naye bulina empeera nnene.

Bano Katikkiro abajjukizza nti ekitiibwa kyabwe nga abakiise ku Synod ey’e Namirembe tekiri mu ntebe oba ebifo bye baalondebwamu wabula kijja kuva ku ngeri gye bakolamu emirimu egigendera ku bifo ebyo.

Katikkiro bino abyogetedde ku Bishop Dunstan Hall e Namirembe bwabadde ayogerako wri abakulembeze bobulabirizi abalonde omuli abazimba b’obusumba wamu n’abakubiriza b’obusumba abakalondebwa nga bagenda ku kulembera ekisanja kya 2026 – 2030.

Omuwandiisi w’obulabirizi Canon Henry Ssegawa, ategeezezza nti ensisinkano eno n’abakulembeze leero egendereddwamu okubangula abakulembeze.

Ono ayongedde n’ategeeza nti abantu b’omubuganda betaaga okwojiwazibwa ku ngeri y’okwekulakulanya.Synod lwelukungana olutegekebwa Eklezia okuyita mu bikoleddwa n’okukuba tooci mu biteekebwateekebwa okukolebwa.

Omukolo guno gwetabiddwako ba Minista ba Kabaka okubadde Minista w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek Robert Serwanga Ssaalongo wamu ne Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek Dr. Anthony Wamala, Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko,Omukungu Gerald Ddamulira Mukasa, Omukungu David Baalak, Omukungu Simon Kaboggoza, bannaddiini n’abalala banji.

LANGUAGE