Abafumbo Elia Paul Luzinda Kizito n’omumbejja Florence Wanyana Luzinda bawezezza emya 15 mu bufumbo obutukuvu

Amawulire Sep 17, 2026
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Namirembe – Kyaddondo

Omulabirizi Elia Paul Luzinda Kizito wamu ne mukyala we Omumbejja Florence Wanyana Luzinda bawezezza emyaka 15 mu bufumbo obutukuvu.

Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, ayozayozezza abafuumbo bano olw’okutuuka ku kkula lino nga bino bibadde mu kusaba okuteegekeddwa ku Lutikko e Namirembe okwebaza Katonda.

Okusaba kuno kukulembeddwamu Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Rt. Rev. Dr. Steven Samuel Kazimba Mugalu. Mu ngeri yemu, Owekitiibwa akulisizza Omulabirizi Eriya Paul Luzinda Kizito olw’okuweza emyaka 81 egy’obukulu neyebaza Katonda olw’okumukuuma.

“Nnamusa Omulabirizi Elia Paul Luzinda Kizito ne mukyala wo Omumbelja Florence Wanyana Luzinda, era mbayozaayoza okuweza emyaka 15 mu bufumbo obutukuvu. Mu ngeri yeemu njozaayoyoza Omulabirizi Eriya Paul Luzinda Kizito olwokuweza emyaka 81. Mukulikire ddala bannaffe” Katikkiro.

Owekitiibwa yeebazizza Omutonzi olw’emyaka 81 gy’awadde Omulabirizi kubanga mu myaka egyo, amukoledde ebikulu nkumu ebigwanidde okwebaza, mu naddala obuweereza mu Kkanisa ku mitendera egy’enjawulo okutuukira ddala bwe yafuuka Omulabirizi.

“Obuweereza bwo tebugasizza Kkanisa yokka, kyokka bugasizza Buganda yonna okutwalira awamu, kubanga e Mukono gye yaweerereza ng’Omulabirizi, wali mu Ssaza lya Beene ery’e Kyaggwe. Awonno tukwebaza olw’emirimu ate n’enkolagana ennungi n’Obwakabaka,” Katikkiro.

Mukyala Florence baye yebaziddwa olw’okukuuma omwami we n’okumulabirira emyaka kati 15, ate neeyebaza n’abaana babwe, n’abooluganda bonna abatambudde nabwo ebbanga lino lyonna.

“Owadde eky’okulabirako er obantu abalala obutaggwamu ssuubi ng’obuzibu buzze. Nneebaza abantu ba Katonda bonna abaakulwanirira yonna gye wayita ng’oli mu buweereza, okuviira ddala ng’oli mwawule,” Katikkiro.

LANGUAGE