Omutindo gw’ebyenjigiriza bwe gutafiibwako kimala ,obwetwaze buba mu lusuubo

Amawulire Oct 11, 2026
Share This

Bya Gerald Mulindwa ne Arthur Kalumba

Kitukutwe Ssaabaddu Kira – Kyaddondo

Katikkiro wa Buganda Oweek Charles Peter Mayiga avuddeyo n’ategeeza nti singa omutindo gw’ebyenjigiriza by’e ggwanga Uganda tegufiirwako kimala, obwetwaze bwa Uganda buba buli mu lusuubo.

Kamalabyonna agamba nti eby’enjigiriza biyina kuzimbibwa okuviira ddala ku musingi ogwa wansi kiyambe okuzimba abantu abatuukiridde obulungi.

Mukuumaddamula bino abyogeredde Kitukutwe mu ggombolola ya Ssaabaddu Kira, bw’abadde aggulawo essomero li Backbay Nursery and Primary School. Essomero lino lyatandika okusomesa Abayizi mu Gatonnya w’omwaka guno, we butuukidde olwa leero nga liweza abayizi abasukka mu 800.

Wabula Katikkiro agamba nti Bannansi bwe baba baakuganyulwa mu bwetwaze bwe ggwanga lino, Omutindo gw’ebyenjigiriza gusaanye okwongera okusoosowazibwa, ssaako ebizimbe n’obuyonjo mu masomero kiyambeko Abayizi okusomera mu mbeera eyeyagaza.

Minisita w’enkulakulana y’abantu era avunaanyizibwa ku by’enjigiriza, Oweek Cotilda Nakate Kikomeko akubiriza abasomesa mu Somero lino okusa essira mu kuyigiriza Abayizi ennimi zaabwe enzaaliranwa.

Omukulu w’essomero lino Kalyango Godfrey Nickson, abuulidde Kamalabyonna nti okuva essomero lino lwe lyatandikibwawo abaana bazze beyongera era kino akyesigamizza ku mutindo kwe basomeseza abaana, olwo abazadde ne bongera okubeesiga okubawa Abaana baabwe.

LANGUAGE