Bya Pauline Nanyonjo
Abantu bangi bebuuza, Amaka g’omuganda galina kufaanana gatya? Bugagga bwenkana ki obukola amaka amalungi? Yye mulina kubaamu bintu kika ki okubalibwa nti ago amaka gali ku mutindo.

Mu ssaza Kyaddondo, ku kyalo bulyankolo mu ggombolola Ssabawaali, Gombe, omumbejja Proscovia Nawatti Mukasa gyasangibwa.
Ekitundu kyonna kimumanyi. Ssi lwakuba nti yaasinga obugagga ku kyalo naye amaka ge kyekifo mwotuuka n’owulira emirembe nga gibukadde munda muggwe. Emiti egigaba ekisiikirize, omuddo mwosobola okutuula nga tewetaaze mukeeka, ebinyonyi ebikaabira mu bbanga nga bivaamu amaloboozi amaseneekerevu. Menye ki ndeke ki?
Omumbejja Nawaatti ssi muvubuka nvumuulo nti agoba biri ku mulembe. Wa myaka 81 egy’obukulu, naye amaka ge agakuumidde ku mulembe, n’okukira abemyaka emito.
Amaka ge ssomo ddamba ku kukuuma omutindo gwo’buyonjo, okukuuma obulamu obulungi n’okwejjako obwavu.
Omutindo guno tegugudde bugwi nga laddu. Nawatti atugambye nti omusingi gw’obuyonjo yagujja ku kitaawe ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa II. Yabakuza akikkaatiriza nti awaka wateekwa okubeera awayonjo. Kale empisa eyo yagitwala mu bufumbo bwe, era kati ayagala egende mu maaso ng’esikira abaana be n’abazzukulu. Nawatti agamba nti obuyonjo busomooza abantu bangi naye okusomoka okusomooza kuno, obuyonjo butandika na buvunaanyizibwa.
Bba Kalooli Mukasa yafa mu 2001 nabalekera yiika munaana (8) ez’ettaka. Yye n’abaana baasalawo mu kifo ky’okugabana, ettaka balikolereko ebyenkizo ebinaabawa ensimbi ate namaka bagafuule eky’okulabirako ku kyalo Bulyankoko.

Minisityule ya Bulungibwansi, Obutonde, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu erina enteekateeka y’Amaka amalungi, Akaalo amatendo. Enteekateeka eno yesigama ku bantu abakoze obulungi nga Nawatti, nebasomesa abalala ekyokukola.
Nga Obwakabaka bwa Buganda bujaguza olunaku lwa Bulungibwansi owa 2026, amaka ga Nawatti gaabadde kyakulabirako eri abantu be Bulyankolo ne Kyaddondo okutwaliza awamu.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yalambudde amaka gano, naye yavuddewo atenda omutindo gwaago.
“okuzza Buganda ku ntikko kutandikira mu maka. Amaka nga abantu balina webasula, abakulu balina ekisenge n’abaana. Nga mu maka ago wayonjo kubanga obuyonjo y’entandikwa y’obulamu. Mu maka ago nga mulimu emmere, abaamu balya nebakkutta naddala abaana. Mu maka ago nga mulimu webajja ssente, ndabye olwaniko lwemmwanyi wano, nga olunda – ndabye ente ya Kabaka”.

Katikkiro yagambye nti okusitula omutindo tekwetaagisa nsimbi nyingi, ekikulu kya kuba na byetaagisa mu bulamu obwabulijjo, ebyo byebijja okutwala Buganda ku ntikko.
”Tewetaaga nyumba galikwoleka. N’ebwoba n’enyumba kyuyi kimu, era obuyonjo tekikugaana kuba nabwo”.
Charles Ssentongo, mutabani w’omumbejja, ategeezezza nti omutindo gw’ebalaba mu maka gaabwe gutambulira ku mpagi ssatu (3). Empisa, Obuyonjo, Okusoma. Ebisatu ebyo, byebibayambye okukula nga balina omusingi omulungi ogubafudde ekyokulabirako.
Ku myaka 81, amaka g’omumbejja Nawaatti obulungi bwaago tebupimibwa ku ndabika ya nyumba kyokka wabula nengeri gye bawangaalamu awaka, obuyonjo, nebyenfuna.
Amaka ge si nyumba gyebabeeramu, kati lyafuuka ssomero lya bulungibwansi, amaka amalungi n’akaalo amatendo.
