Abazadde b’ebiro bino kyabuvunanyizibwa okugunjula omwano mu mpisa ennungi ez’obuntubulamu

Amawulire Oct 09, 2026
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Nateete – Kyaddondo

Lydia Nakungu ayanjulidde bakadde be munne gwasiimye mu bangi Dennis Muhoozi. Omukolo gubadde Nateete mu ggombolola ya Mukulu wa Kibuga Mengo.

Nakungu muwala w’omugenzi Josephat Kayimbye, ne Florence Namukwaya, muganda wa Mukyala wa Katikkiro.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yebazizza nnyo Nnyina wa Nakungu okumufuula omuntu eyegombesa kubanga singa tebaamufaako ne Dennis teyandimwegombye kumuwasa. Era avumirira enjogera egamba nti buli mwana ajja n’omukisa gwe, agamba nti omwana ssi kamyu nti kakulira ku bwakatonda, omuzadde bwazaala omwana alina okumukuza mu mbeera esikiriza omwami amuwase nga bayise mu makubo amatuufu.

Agamba omuzadde mu Buganda ow’ebiro bino, kya buvunaanyizibwa okugunjula omwana mu mpisa ennungi ez’obuntubulamu. Era n’okumuweerera buvunaanyizibwa ssi kwefiiriza. Asabye Dennis Muhoozi okuyisa obulungi Lydia nga omwana w’omubantu, era amwebazizza okuba omuvumu neyevaamu n’awasa kubanga ennaku zino abalenzi batya okuwasa olw’obutitiizi.

Awabudde abawala abaagala abavubuka abagagga nti beegendereze bayiza okufumbirwa ababbi kubanga obugagga buva mu kufuna nsimbi ate nga zitwala akabanga akawerako okuziweza.

Wadde waliwo endowooza ennaku zino nti abavubuka banafu, Katikkiro agamba abaagalana ababiri balina okuyambagana batuuke ku bulamu bwe baagala era kino kyayagaza Dennis ne Lydia, bawangane amagezi, olugendo lwe batandise olw’obufumbo lubanyumire naddala nga bakulembezza ebibakulaakulanyiza awamu.

LANGUAGE