Bya Samuel Stuart Jjingo
Ssabawaali Gombe – Kyaddondo
Obwakabaka bujaguzizza Olunaku lwa Bulungibwansi ne Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda mu Ggombolola Ssaabawaali Gombe.

Katikkiro Charles Peter Mayiga alambise ku bukulu bw’okukuza olunaku lwa Bulungibwansi nga akabonero akasomesa abantu okubeera mu nsi eyeyagaza, ennyonjo. Agambye abantu ba Buganda, betaaga babe mu maka amateeketeeke, nga abagalimu balamu, balina emmere ebamala ate nga balina webajja ssente ezibayimirizaawo.
Katikkiro agamba nti bajjajjaffe bagunjawo obwaami lwa kwagala kulungamya nsonga za bukulembeze mu Buganda era obwami obutandiikira ku mutongole paka ku Katikkiro bwayamba nnyo Buganda okuba n’obukulembeze obulambulukufu era bwebasobozesa Buganda okugaziwa okuva ku masaza 3; Kyaddondo, Busiro ne Mawokota okutuuka ku masaza e 18 ate era nerifuuka eryamaanyi.

Kamalabyonna agamba nti Obwakabaka buyise mu nkyuukakyuuka nyingi omwali n’okuggyawo Obwakabaka mu 1967 naye enkyuukakyuuka eno yajja enkola ey’obukulembeze eya Buganda nga ebunye mu Uganda yonna okutuusa kati. Bwatyo alambisse nti Obwakabaka tebulina buyinza bwa byabufuzi naye bulina obuyinza obutuuka ku meeme z’abantu n’olwekyo abaami ba Kabaka abakuutidde okukubirizza abantu okwelwanako; balime emmwanyi, balime ebittooke, balunde “Ente ya Kabaka”, okwewala mukenenya, basitule omutindo gw’amaka nebirala kubanga eby’okusitula omutindo ssi bya bugagga wabula bugunjufu.

Kamala byonna awabudde Gavumenti eyawakati ku nteekateeka ya Bulungibwansi buli lwamukaaga olusemba mu mwezi, ereme kussa kifuba ku bantu, nga bakubibwa emiggo, Wabula eteekewo ebikozesebwa mu buyonjo nga enkampa n’emmotoka eziyoola kasasiro, ate ekozese mirembe.
Sentebe w’olukiiko oluteesiteesi era Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu Oweek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo akunze abantu ba Kabaka okumanya nti buvunaanyizibwa bwa buli muntu okulongoosa w’ebawangaalira.

Oweek Mayanja ayanjudde emikolo gyonna egikulembedde omukolo guno okuli okujaguza olunaku lw’abakadde, emisomo ku bulungi bwa nsi, okuggulwawo sitoowa z’ebikozesebwa mu bulungibwansi mu ggombolola, okulongoosa mayiro ya bulungibwansi ku luguudo lwa Lubwama n’okusimbako emiti ginnansangwa n’ebirala nga byonna bagendereramu okusitula omutindo gw’obuyonjo mu Buganda.

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Oweek Joseph Kawuki ayozayozezza nnyo abe Kyaddondo okutuuka ku buwanguzi buno nga kati bakawungula empaka z’okuvuganya mu masaza omulundi ogw’okuburi ogw’omuddiringana Oweek. Kawuki asiimye abakulembeze b’essaza Kyaddondo olw’okunyikira okugoberera olupimo ku nkola y’emirimu olwabaweebwa n’ebasobola okugyayo obunero nsaanvu mu munaana (78%) okukira ku banaabwe era nebategeka olunaku lwa Bulungibwansi luno.

Minisita Kawuki agamba nti waliwo enjawulo mu kuvuganya kw’omulundi guno nga kino kirabikira ku bubonero obwakonolwa amaggombolola, amasaza, n’abantu ssekinomu.

Omwami w’essaza Kyaddondo Kaggo Oweek. Ahmed Matovu Magandaazi asabye Obwakabaka okuwa omukisa eri amasaza agaba gaakwebedde mu kuvuganya kw’entambuzza y’emirimu mu masaza nago gayitimuke.Olunaku Buganda lwekuza nga olwa Bulungibwansi, lwelunaku Omulangira Edward ow’e Kent (mwanyina wa Nnaabakyaala Elizabeth II) lweyasisinkana Ssekabaka Muteesa II e Bulange e Mmengo mu 1962, nebasazaamu endagaano zonna Buganda zeyali ekoze ne Bungereza.
Enkeera nga 9 mukululusabitingotungo, Uganda eyawamu neyefuga.
