Oweek. Waggwa Nsibirwa Awadde Abasajja Obukodyo bw’Okuggaggawala

Amawulire Oct 10, 2026
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa akubirizza abasajja naddala abavubuka okubeera abakozi, okuteeka ssente mu bintu ebikola amagoba basobole okuwangula obulamu.

Oweek. Nsibirwa okwogera bino abadde ku lukiiko lw’Abasajja Abadiventi olwa Kampala Metropolitan Zone, Adventist Men 2026 Congress, olutudde ku Buladde Palm Villas e Magere ku luguudo lw’e Gayaza. Olukungaana lutambulidde ku mulamwa nti “Okufuula Omwami Omuntu Ow’omulamwa”.

Oweek. Waggwa ategeezezza abavubuka obukulu bw’okukozesa obulungi emikisa egibajjira ku mirimu, okwekolera erinnya eddungi n’okwongera ku busobozi bwabwe mu mirimu gye bakola. Wano wakubirizza abasajja okwenyigira mu nteekateeka z’okutereka ssente nga baziteeka mu bizinensi n’okusiga ensimbi ezibazaalira amagoba era agamba nti ekikulu ssi kufuna ssente zokka, wabula okuzikozesa mu ngeri ezaala ssente endala.

Ng’awa ekyokulabirako okuva mu bulamu bwe, Oweek. Nsibirwa ategeezezza nti yazimba ennyumba ye esooka e Kisaasi ng’alina emyaka 28, n’akubiriza abavubuka okutandika okuteekateeka eby’ensimbi nga bakyali bato kubanga ensimbi zigoberera ebirowoozo ebirungi era basanidde okwekenneenya akabi akayinza okubaawo n’okusalawo mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa.

Oweek. Nsibirwa era asabye abasuubuzi okumanya obulungi ensaasaanya y’emirimu gyabwe, okupima omuwendo gw’ebintu bye batunda n’okubala amagoba. Alabudde nti okutunda ebintu ebingi tekitegeeza kufuna magoba mangi ng’akikkaatiriza nti bizinensi yeetaaga ssente ezibeeraawo buli kiseera okusobola okugenda mu maaso.

Asabye abasuubuzi okubeera n’ensimbi ez’okweyambisa mu mbeera ez’amangu, ate n’okuteeka ssente mu bintu ebibazaalira amagoba wamu n’okukuuma eby’obugagga byabwe nga bakozesa yinsuwa n’obukodyo obulala obuziyiza okubifiirwa.

Ye Omulabirizi w’Abadiventi mu Central Uganda Conference, David Simwogerere yeebazizza Oweek. Waggwa Nsibirwa olw’okulungamya abavubuka Abadiventi mu nkozesa ennungi ey’ensimbi, okuzisiga n’okweggaggawaza era agamba nti amagezi gano gagenda kuyamba abavubuka okuteekateeka obulamu bwabwe obw’omumaaso, okwekolera emirimu n’okuzimba amaka n’eggwanga ery’enkulaakulana.

LANGUAGE