Abayizi bakubiriziddwa okunyweza eby’enjigiriza eggwanga libaganyulwemu
Minisita wa Kabineeti, Olukiiko, n’ensonga ez’enkizo mu woofisi ya Katikkiro Oweek. Noah Kiyimba, asomoozezza abayizi okunyweza eby’enjigiriza nga erimu ku makubo mwe bagenda okuyita okugasa eggwanga, n’akuutira abazadde okussa obuntubulamu mu baana.

Oweek. Noah Kiyimba abadde atikkula Oluwalo olukunukkirza obukadde 2 okuva mu bayizi b’essomero lya Good Times Nursery and Primary School e Kawaala abakiise e Mbuga.Mu bubaka bwe eri abayizi, Oweek. Noah Kiyimba abasabye nabo okutwala obuvunaanyizibwa okutaasa butondebwensi nga bayambibwako abazadde n’abasomesa okusobola okuzzaawo Uganda eyeyagaza mu by’embeera y’obudde.

Nansamba Gorret, akulira eby’ensoma ku ssomero lino, atangaazizza ku nsonga ezibaleese embuga, kwe kwagala okusigamu abayizi omwoyo ogwagala okuweereza Obwakabaka, era kino bakikola buli mwaka.








