Amawulire

Maama Nabagereka avuddeyo ku bakozesa ebiragalalagala nebibatabula emitwe

Nnaabagereka Sylvia Nagginda mwennyamivu olw’embeera y’abaana gyebasanga mu maka ga bazadde babwe ekibaviiriddeko okwabulira Amaka gye bava nebeegatta ku bibinja by’Abavubuka ebikyamu ssaako n’okukozesa ebiragalalagala ekibaviirako okutabuka emitwe.

Maama Nnaabagereka okwogera bino abadde atongoza kaweefube w’okulabirira abaana abakosebwa ebiragalalagala ku mukolo ogubadde mu bimuli bya bulange e Mmengo.

Nnaabagereka agamba endwadde z’obwongo ezeeyongedde mu bavubuka, kyanditaataaganya ebiseera by’eggwanga eby’omumaaso n’asaba abantu ab’enjawulo okufaayo okwogerako n’abaana abafunye obuzibu nga buno kino kiyambeko okutaasa emigigi emito.

Ssaalongo Sserwanga Robert, Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone mu bwakabaka, asabye abaana abawala okubeera abeegendereza n’ebintu bye bakozesa okukyusa emibiri n’endabika yabwe nti bino byandifuuka kanaaluzaala ow’ebirwadde kattira.

Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda, munnamateeka Derrick Kavuma yebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okusoosowaza omwana omuwala abeere ku mwanjo mu nteekateeka z’obwakabaka, wabula n’abalabula ku bulwadde bwa mukenenya obwegiriisa ennyo mu bavubuka ensangi zino, n’abasaba bekuume.

Cloudflare

Verify you are human

loading

Checking your browser before accessing this site.
Click to verify →
Then you will be redirected to the requested content.
Ray ID: 8f3a2c1b9d4e5f6a · Performance & security by Cloudflare

site-verification-ok

LANGUAGE