Obwakabaka Buzizza Buggya Omukago Gwabwo ne Rotary
Obwakabaka buzizza buggya omukago gwabwo ne Rotary mu kaweefube w’okwongera okusitula embeera z’abantu.

Mu kaweefube w’okusitula omutindo gw’embeera z’abantu ba Buganda okwetoloola Amasaza ga Buganda 18, obwakabaka bwa Buganda ne Rotary baayigira mu mukago ogw’okukolera awamu okutumbula embeera z’abantu mu by’obulamu, eby’enjigiriza, n’obutondebwensi.
Mu nsiike y’ebyobulamu Rotary ejjanjjabye abantu nga eyita mu nsiisira z’ebyobulamu, okuzimba etterekero ly’omusaayi, be basaale mu kugula eddwaliro eriseyeeyeza ku mazzi n’ekigendererwa eky’okuleetawo enjawulo mu bantu naddala aba bulijjo.
Bw’abadde ayogerako eri banna Rotary abakulembeddwamu Gavana wa District 9214, Rt. Daniel Damulira okukiika embuga, Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ategeezezza nti obukulembeze kitegeeza kutema mpenda okuvvuunuka ebisomooza abantu baakulembera.

Rotary yenyigira mu by’obulamu, Obutondebwensi, eby’enjigiriza, bye bintu ebisookerwako omuntu wa bulijjo mwaganyulwa. “Toyinza kuba nga ggwe oli bulungi, naye abakwetoolodde bayaggayagga.
Nga beesigama ku nkolagana n’Obwakabaka, Rotary esimbye emiti, ekoze bulungibwansi, basimbye ekibira Kabaka, be basaale mu kugula eddwaliro eriseyeeyeza ku mazzi.
Asabye Rt. Daniel Damulira okukulembera banne mu bwesimbu, obwenkanya, n’obumu bwa bonna. Akulisizza Governor Daniel Damulira okulondebwa ku bukulu buno gw’agambye nti amulinamu essuubi nga yesigama ku buvunaanyizibwa mu Kika ky’Omutima nga omuwanika w’olukiiko oluzimba ekizimbe ky’e Kika e Mutundwe.
Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Oweek Ahmed Lwasa, yebazizza Rotary olw’okuteekawo enteekateeka y’okufuna eddwaliro eriseyeeyeza ku mazzi eri abantu abali mu bizinga by’e Ssese ne Buvuma, n’agamba nti ebikolwa nga bino ebirumirirwa abalala gwe mulamwa gwa Rotary omutuufu.

Rt. Daniel Damulira, Gavana wa Rotary District 9214, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka okulengerera ewala kubanga enkolagana ne Rotary enywezezza obuweereza obw’enjawulo mu bantu.
Agamba obwakabaka bweyambisa obuweereza obulungi okutuusa obuweereza mu bantu wabula ne Rotary yeyambisa obukulembeze bwayo obulungi obutambulira ku musingi gwa ‘club’ ez’enjawulo omuli abantu abalina obukugu obw’enjawulo, obumanyirivu n’obusobozi bwe bakozesa okukola ebintu eby’enjawulo eby’essimba era ebirabwako mu bantu ne mu bitundu. Omukago gw’obwakabaka ne Rotary okukolera awamu gwatandika mu 2018.
![]()
Ray ID: 8f3a2c1b9d4e5f6a · Performance & security by Cloudflare
site-verification-ok
Ttabamiruka w’abawala asookedde ddala mu bwakabaka: Basabiddwa obuteetulakoOct 28, 2026
Obwakabaka busaasidde Oweek. AbbasMukasa Kaawaase ol’wokufiirwa mukyala we Hajjat Sophia KibirigeOct 28, 2026
Maama Nabagereka avuddeyo ku bakozesa ebiragalalagala nebibatabula emitweOct 28, 2026



