Abaami ba Kabaka bakuutiddwa okukuuma ettaka ly’Obwakabaka

Agafa e Mengo Mar 06, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Lubiri – Mmengo

Omulangira Felix Muteesa akuutidde Abaami ba Kabaka okutwala ensonga y’okukuuma ettaka nga nkulu ddala kuba yeseigamye ku buvunaanyizibwa obwabakwasibwa.

Bino Mulangira Muteesa abyogedde atikkula Amakula agaleeteddwa abantu ba Kabaka okuva mu Ggombolola Mutuba IV Makulubita, mu Lubiri e Mmengo.

Akikaatirizza nti enkaayana n’endooliito eziri ku ttaka ly’obwakabaka mu bitundu yonna gyerisangibwa, ziva ku bulagajjavu bwa Abaami ba Kabaka abaagala okufuna ensimbi ez’amangu ne balemererwa okubaako enkulaakulana gye bateeka ku ttaka lino ekivaamu kwe kwekobaana n’abanyazi nebalitwala.

Omulangira Felix Muteesa akuutidde abazadde okusomesa abaana era essira baliteeke nnyo ku by’emikono.

Katikkiro we Byalo bya Kabaka,  Moses Luutu yeebazizza banna Bulemeezi bano olw’obutatenguwa Mpologoma nebakiika embuga.

Omwami atwala Ggombolola ya Mutuba IV Makulubita, Goriath Lumbuye yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olwa okubateera eddwaliro mu kitundu kyabwe e kibayambye okwekebeza endwadde naddala mukenenya ne bamanya bwe bayimiridde.

Mu bireeteddwa kuliko; Amatooke, Embuzi, Emmere enganda, e bikajjo, n’ebirala biyambeko mu kuddukanya enteekateeka eziri mu mbiri za Kabaka.

LANGUAGE