Katikkiro Mayiga agenze Germany mu BBECO 2026

Amawulire May 21, 2026
Share This

Bya Miiro Shafik

Obwakabaka bwa Buganda mu 2015 bwatandikawo enteekateeka ya ttabamiruka wa Buganda Bumu ng’ono agendererwamu okukumaakuma abantu ba Buganda ababeera ebweru wa Buganda mu mawanga ag’enjawulo, era abakuŋŋaanira mu ttabamiruka ono bafuna omukisa okumanyagana, okukubaganya ebirowoozo n’okumanyisibwa ebifa gye basibuka mu Buganda.

Ttabamiruka eyasookera ddala yatongozebwa mu 2015 mu ssemazinga wa America era n’atuumibwa Buganda Bumu North American Convention (BBNAC), ate mu 2024, ttabamiruka y’omu yatongozebwa mu ssemazinga wa Bulaaya, ono n’atuumibwa Buganda Bumu European Convention (BBECO). Ebbanga gye lyeyongera mu 2025 ttabamiruka yatongozebwa mu ssemazinga wa Asia n’atuumibwa Buganda Bumu Arab and Asia Convention (BBAAC) ne ttabamiruka wa Buganda Bumu e South Africa eyatuumibwa Buganda Bumu South African Convention BBSA. Ttabamiruka ono ku buli ssemazinga atuula oluvannyuma lw’emyaka ebiri (2).

Mu mwaka guno 2026, ttabamiruka wa Buganda Bumu mu Bulaaya ategekeddwa ku Global Event Center mu kibuga Berlin ekya Germany, era wakutambulira ku mulamwa: “Okukuuma ennono n’okwekulaakulanya ku mawanga”.

Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kwogerako eri bannamawulire nga tannasimbula kugenda Germany alambuludde ku bigendererwa ebyasinziirwako okuteekawo enteekateeka eno eya ttabamiruka.

“Tugenderera okulaba nti abantu ba Kabaka abali mu bitundu ebiri wabweru wa Buganda bafunawo ensisinkana ne bakuganya ebirowoozo ku mbeera zaabwe bbo bennyini abali eyo, ate ne bakuganya ebirowoozo ku mbeera eziri eka ne bafuna n’omukisa okugoberera obulungi ensonga ezifa gye basibuka, kyokka era okukuŋŋaana kuno ku akubakumaakuma ne kibayamba okumanyagana n’okulondoola ensonga ezibakwatako” Katikkiro Mayiga.

Owek. Mayiga agamba nti bangi babeera ku mawanga ne bamalayo emyaka egisukka ne mu kkumi, abalala bazaalirayo abaana be bakulira eyo, kyokka basigala balina Ebika nga baganda, wewaawo waliwo n’abatali baganda naye nga basibuka mu Uganda, bonna bantu ba Kabaka. Bwatyo ekikaatirizza nti mu ttabamiruka ono kiyambako bano okubajjukiza obuvo bwabwe, baleme kwerabira buwangwa bwabwe, olulimi n’okubamanyisa enteekateeka z’Obwakabaka endala. Kino kibayambeko okukukuumira awamu abantu ba Kabaka baleme kuwulira nga abataliiko waabwe.

Ku mulamwa gwa ttabamiruka w’omwaka guno agamba nti “Okukuuma ennono n’okwekulaakulanya ku mawanga”, Katikkiro Mayiga ategeezezza nti omuntu ne bwabeerera ku mawanga okumala ebbanga, asigala aliko ensibuko era ttabamiruka omulamwa guno guluubirira okunnyikiza ennono n’obuwangwa bwa Buganda, abantu baleme kwerabira buvo bwabwe.

“Ku nsonga y’okwekulaakulanya; mu Nsi z’e Bulaaya waliyo emikisa mingi nnyo egy’okwekulaakulanya era twagala abantu abali eyo, ku lwabwe ssekinoomu ne mu kukolera awamu balondoole emikisa egiri mu butale bw’eyo, basigemu ensimbi olwo amagoba ge bafuna bagazze eka, bakulaakulane n’eggwanga lyaffe likule” Katikkiro Mayiga.

Owoomumbuga agamba nti mu America eriyo abayudaaya abeezimba ne bakulaakulana okutuuka ku ssa nti bwe boogera, bawulirizibwa. Agamba bano bakoze bbanka, amakolero, zi yinsuwa n’ebirala ekireetera abantu bangi okubeetaaga, agamba nti n’Abaganda abali ebweru basaana okwekolamu omulimu babeeko bwe bakola mu mawanga ago nga bya nkulaakulana. Ategeezeza nti mu America Abaganda baliko ssente ze bakungaanya era balina bye bateekateeka okusigamu ensimbi, ate e South Africa abaayo bbo baaguze n’ettaka e Cape Town.

“Twagala bw’oyogera ku buwangwa n’ennono, abantu bakulabe ate ne mu nkulaakulana gy’ali, bisobokera ddala” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro mu lugendo luno atambudde ne Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’Ensonga za Buganda ebweru Owek. Joseph Kawuki, Omubaka wa Kabaka mu Ankole Owek. Hajj Mutaasa Kafeero, Omumyuka Asooka owa Kaggo Omw. Bakulumpagi Ronald, Omumyuka Asooka owa Ssebwana Dr. Stephen Sseruyange n’abantu abalala.

Enteekateeka za ttabamiruka zikulembeddwamu Oweek. Samuel Ssekajugo Omwami w’Essaza Rhinelands erikyazizza ttabamiruka ono, ng’ali wamu ne Muky. Lindah Ssekayita omumyuka w’omubaka wa Kabaka mu Rhinelands era Ssentebe w’enteekateeka, Muky. Janet Nabatta Mukiibi Amyuka Omubaka wa Bungereza, beegattiddwako Omubaka wa Uganda mu Bugirimaani H.E Danny Ssozi, ssaako akulembeddemu enteekateeka mu gombolola ya Bugirimaani Mw. Frank Mperwe Kyambadde. #BBECO2026

LANGUAGE