Ababiito b’e Kibulala bagobye Wasajja Moses Kafunende eyeeyita Kabaka w’ Emisambwa mu Lulyo Olulangira

Amawulire Feb 03, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo ne Samuel Stuart Jjingo

Bulange – Mmengo

Olukiiko olufuzi olw’Ababiito nga lukulembedwamu Abakulu b’Olulyo luno awatali kwekutulamu  basazeewo okugoba Wasajja Moses eyeeyita Kabaka w’Emisambwa mu lulyo lwabwe olusibuka e Kibulala nga bagamba nti tebasobola kubeera kitundu ku muntu yenna avvoola n’okuyisa amaaso mu Nnamulondo.

Kino kiddiridde  Abakulu bano okukubaganya ebirowoozo ku bikolwa bya Wasajja Kafunende  bweyafuna omusamize Jjumba Aligaweesa okumutikkira nga Kabaka w’Emisambwa naamutuuza ku kyefananyiriza Nnamulondo.

Katikkiro w’ Ababiito b’e Kibulala, Omulangira Kityo Stephen Kayemba Nzaddeki agamba nti basazeewo ono agobwe mu Kika kuba yeewang’amye ku Nnamulondo ate nga bbo bawulize era nga bamanyi Kabaka omu.

Kafunende bamuweze obutaddamu kumulaba Kibulala wadde abagoberezi be bonna batambula nabo.

Omulangira Kayembe annyonnyodde nti Omwami Wasajja Moses alina ebigendererwa eby’okwonoona ekifaananyi kye Kibulala eri Obwakabaka  nga bwekityo tebasobola kusirika busirisi.

Ssaababiito w’ekibulala Omulangira Walugembe Sam Katerega V asanyukidde ekisaliddwawo ab’Ekika Wasajja Moses mwava oluvannyuma lwa bajjajja b’Olulyo lwonna okuteesa abadde muzzukulu wabwe abonerezebwe kubanga yewang’amya ku bukulu bwatatekwa kubeerako.

Omulangira Walugembe era awagidde ky’okugoba Wasajja nakakasa nti okugobwa mu Lulyo kitegeeza nemu Mutuba, mu Lunyiriri wamu nemu Nnyumba agobeddwamu.

Ono annyonnyodde nti ekibonerezo kino kibaddewo okuva ku mulembe gya bajjajja okusinzira ku musango omuntu gwaaba azzizza era kyakukolebwa ky’oyo yenna avaayo okuvvoola Nnamulondo.

Bwatyo asabye abantu ba leero  okukuuma ebyafaayo kuba omukolo ogutuuza Kabaka wa Buganda gukolebwa ku muntu omu yekka.

Yebaziza bajjajja be Kibulala olw’ekiteeso eky’okugoba omwami Wasajja Moses mu kikka era nagobebwa era nasiima nnyo abo abasaasanya amawulire ago nabasaba bongere omulimu ogwo mumaaso mu nsi yonna.

LANGUAGE