Balamaze ku Lusozi lwa Jjinja Mawuuno, Nebalabula Abasaatuukira ku Ttaka ly’ Embiri n’Amasiro

Amawulire Feb 10, 2025
Share This

Bya Ssemakula John

Kawempe – Kyaddondo

Abavunaanyizibwa ku lusozi lwa Nnaalongo Jjinja Mawuuno nga bakuliddwamu Jjaja w’Olulyo   Olulangira Ssaalongo Luwangula Basajjansolo balabudde abasaatuukira ku Ttaka lye Embiri, Amasiro ne bifo eby’Ennono okukikomya mu bwangu.

Obubaka buno babuweeredde mu Kulamaga ku Lusozi lwa Nnaalongo Jjinja Mawuuno okwo omulundi Ogwa 54 e Kawempe mu Kyaddondo ku Ssande.

Omulangira Basajjansolo agamba nti tebagenda kuttikira ku liiso muntu yenna ayagala okusaanyawo ebifo bino kubanga kittatana n’Okufeebya Nnamulondo.

Basajjansolo yeekokodde abafere abalimbika mukutereza Okutaasa n’Okukuuma Ennono ne banyaga ebifo eby’Obuwangwa.

Ono agamba ebifo ebikyalina okununulwa bikunukiriza mu bikumi bitaano era alabudde abefunyuridde okubyonoona nti omuli okutunda ettaka lya Masiro Embiri ne Mbuga nti ssibakumuttira kuliiso wabula bagya kubasiimba mu mbuga z’Amateeka bitebye.

Abalamazi bano balambuziddwa Ssentebe w’ekifo kino Kibirige Ganyana n’ Omulangira Kanaakulya Jjuuko ebintu ebyenjawulo ebisangibwa mu kifo kino okubadde Kabaka  Ndawula , Kabaka Bulamu ne mbuga endala era bano obwedda bawalampa ssaako wetoolola embuga zino nga bwolaba nga kino babadde bakikolera munyiriri.

Kinajjukirwa nti Ekifo kino Jjinja Mawuuno lye Ddwaliro ekikulu mu Bwakabaka Bwa Buganda kyoka liriri mu nyingo Ssatu Okuli eddwaliro era bangi abalamaga mu Kifo bagenda yo Kujanjabibwa, enyingo endala ya Ssomero, ne nyingo eye Kkomera era abantu bonna abagendera mu nyingi eye Kkomera bateebwa.

LANGUAGE