Eggombolola z’e Bugerere zisindanye mu mizannyo egy’enjawulo

Ebyemizzanyo Feb 07, 2025
Share This

Bya ShafiK Miiro

Bugerere

Eggombolola ez’enjawulo ezikola essaza Bugerere zitunse ng’empaka zino ziggulawo ku kisaawe kya Bukamba C/U Primary School.

Empaka zino zitandise n’emizannyo esatu okuli omupiira gw’ebigere, okubaka awamu n’omweso ebinyumidde abalabi.

Bw’abadde aggulawo empaka zino, Mugerere Samuel Ssemugooma asabye abazannyi wamu n’abawagizi okukulembeza empisa mubuli kyebakola era bafeeyo okukuuma omutindo gw’empaka zino.

Owek. Ssemugooma yeebazizza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima newabaawo empaka zino kubanga zibayambye okuzuula ebitone nga kijja kubayamba okukola obulungi mu mpaka z’Amasaza ez’omwaka guno.

Gyebigweredde nga mu mupiira nga Mutuba II Nazigo, nga bawangula Ssaabaddu Bbaale 1-0 ate mu kubaka Mutuba II Nazigo neekuba Ssaabaddu Bbaale n’obugoba 13-4.

Mu Mweso, Mutuba II Nazigo baafunye obuwanguzi, bwebakubye Ssaabaddu Bbaale mu lawundi zombi.

Empaka zino zikyagenda mu maaso nga zisuubira okukomekkerezebwa nga 30 omwezi ogujja.

Emizannyo gino gyetabiddwako Abamyuka ba Mugerere okuli; Hajj Bashir Ziraba Omumyuka Asooka owa Mugerere ne Omw. Mugerwa Patrick Omumyuka Owookubiri era atwala ebyemizannyo ku ssaza awamu n’abantu abalala bangi.

LANGUAGE