
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza olukiiko olugenda okuteekateeka Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’emyaka 70.
Olukiiko luno, Kamalabyonna Mayiga alutongolezza mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano nalambulala amakulu g’ Amazaalibwa ga Beene.
Olukiiko olutongozeddwa lukulirwa, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, amyukibwa Owek. Choltilda Nakate Kikomeko Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka, Omuk. Josephine Nantege ye muwandiisi w’Olukiiko luno, Owek. Richard Kabanda mmemba ku lukiiko luno n’abakiise abalala.

Ow’omumbuga alambuludde amakulu g’okujaguza amazaalibwa ga kabaka mu Buganda kubanga Ssaabasajja Kabaka ayise mukusoomozebwa okwenjawulo era obuganda bulina ensonga nnyingi nnyo lwaki bujjagulizaako omutanda amazaalibwage.
Mukumaddammula bwatyo asabye olukiiko oluteekateeka amazaalibwa gano okugoberera ennono y’emikolo egikolebwa ku mazaalibwa gano okujayo obukulu bwago neyeebaza katonda owangaazizza omuteregga.
Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka amazaalibwa gano nga ye mumyuka Owookubiri owa katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa yeeyamye okuteekateeka obulungi emikolo gyamazaalibwa g’omutanda.
Owek. Robert Waggwa akuutidde abantu ba kabaka okuwagira enteekateeka zonna ezigenda okukulemberamu emikolo gyamazaalibwa ga kabaka.

Kinajjukirwa nti Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ga kujaguzibwa nga ennaku z’omwezi 13 omwezi oggwokuna okuweza emyaka 70 nga ayuuguuma.