
Bya Gerald Mulindwa
Ziroobwe – Bulemeezi
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga alaze obwetaavu obw’abantu naddala abavubuka okunoonya obukugu era bettanire Tekinologiya kiyambe okulwanyisa ebbula ly’ emirimu eriri mu ggwanga.
Okwogera bino, Kamalabyonna Mayiga abadde ku kyalo Lubira mu ggombolola Mutuba VI Ziroobwe, mu Ssaza Bulemeezi, bw’abadde aggulawo ettendekero ly’ebyemikono erya Libra Vocational and Business Institute ku Lwokuna.
Katikkiro Mayiga agamba abantu basaanye okubeera n’obukugu obumala mu mirimu gyabwe n’akikaatiriza nti mu kiseera kino nga Buganda eyayanira okudda ku ntikko, okufuna obukugu mu by’emikono kikulu nnyo nakunga abavubuka okwettanira amatendekero ag’ekika kino.
Owek. Mayiga agattako nti eby’emikono bireetawo nnyo eby’enkulaakulana n’atendereza omutindo ettendekero lino gwe liriko wabula n’asaba abantu obutamala gatandikawo matendekero nga tegali ku mutindo.

Omutandisi w’ettendekero lino era Ssentebe wa Bboodi ya K2 telecom Omuk. Ssekabembe William, ategeezezza nti batandikawo ettendekero lino okuteekawo ensomesa y’ebyemikono etuukiridde naddala mu masomo g’amasannyalaze, okusiba enviiri, okulabirira abaana, okukanika emmotoka, okufumba, n’okwokya ebyuma.
Omuk. Ssekabembe agamba nti Ensi ezikulaakulanye zitambulira mu masomo ga bya mikono wabula n’akiikira ensingo abantu abagamba nti amasomo geby’emikono ga baalemwa.
Ye Minisita w’Ebyenjigiriza n’Enkulaakulana y’Abantu mu bwakabaka, Owek. Chotildah Nakate Kikomeko, akubirizza abazadde okunyikira okuweerera abaana era babagazise eby’emikono kubanga lye kkubo Uganda lyekutte okulwanyisa ebbula ly’ emirimu.

Omwami w’Essaza Bulemeezi, Kangaawo Oweek Ronald Mulondo, atenderezza omutindo gw’ettendekero lino erissiddwa mu ssaza lino era asabye abayizi abalisomeramu okulikuuma obutiribiri obutalyonoona.
