Katikkiro Mayiga  asabye abamalirizza emisomo okubeera abagumiikiriza

Ebyenjigiriza Jan 27, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Kakeeka – Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga awabudde abayizi abatikkiddwa ku ttendekero ly’ Obwakabaka erya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education, okubeera abagumiikiriza baleme kubuguutana nga banoonya obugagga obw’amangu bwebaba baagala okumalako.

Okwogera bino Kamalabyonna abadde atikkira  abayizi abasoba mu 1064 abakuguse mu masomo ga Dipulooma ne Satifikeeti  ku matikkira ga Buganda Royal Institute ag’omulundi ogw’e 19.

Mukuumaddamula abayizi abategeezezza  nti ensi yeetaaga omuntu akozesa obukugu mu mirimu gye era batwale obukugu obwo betandikirewo emirimu egyabwe era bagikole mu buyiiya n’okwagala baleme kulinda kuweebwa mirimu.

Katikkiro agamba nti enteekateeka y’ebyensoma okuviira ddala ku bufuzi bw’amatwale yeeyo ey’amasuuti, nga abalala tebatwalibwa kubeera nti baasoma ekintu ekikyamu mu ndowooza.

 Owek. Mayiga annyonnyodde nti obuwanguzi tebwetaaga oyo ayambadde essuuti oba ettaayi, n’oyo azimba ennyumba, omufumbi, naye awangula singa yewayo, era omuzimbi omulungi bwasasulwa afuna essanyu eriva mu ntuuyo ze.

Minisita w’ebyenjigiriza n’enkulaakulana y’Abantu, Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko ategeezezza nti eddimu Obwakabaka lye bwatandiseeko ery’okussaawo amasomero ga Nnassale ku Masaza, lyetaaga abakugu abasobola okusitula omutindo gweby’enjigiriza mu masomero n’olwekyo abayizi abakuguse okuva ku Buganda Royal Institute balina omukisa munene okufuna emirimu mu masomero ago.

Ssenkulu we ttendekero lino, Owek Joseph Balikuddembe Ssenkusu, agambye nti obuwanguzi Buganda Royal Institute bwetuuseeko mu myaka 25 bwesigamiziddwa ku buwabuzi bwa Ssaabasajja Kabaka, Kabineeti ye, n’obunyiikivu bw’abazadde okusasula ebisale by’abayizi ssaako n’okwewayo kw’abayizi okusoma ebyo ebisuubirwamu.

Omuyizi Nambiito Mary Clofa, yasukkulumye ku balala n’obubonero 4.45 CPA  era aweereddwa kavu wa mitwalo ataano.

LANGUAGE