Katikkiro Mayiga asabye Gavumenti okuyimbula Dr.  Kizza Besigye

Amawulire Feb 21, 2025
Share This

By Pauline Nanyonjo

Bulange-Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Gavumenti eya wakati  okuyimbula Dr Kizza Besigye nga egoberera ensala kkooti ensukkulumu gyeyawa gyebuvuddeko.

Okulambika kuno, Kamalabyonna Mayiga akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano bw’abadde atongoza enteekateeka y’Oluwalo ey’omwaka 2025.

Kamalabyona agamba nti okukuumira Dr. Besigye mukkomera nga mulwadde kiwa eggwanga ekifaananyi ekibi kyokka nga omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni asiiba agamba bannayuganda nti gavumenti ye egoberera amateeka nga etuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo era bannayuganda.

Owek. Mayiga agamba nti  yasanyuse nnyo ku ebigambo bya Pulezidenti mukulaziya abalamuzi ba kkooti ejulirwamu bweyagambye nti kikulu ensi Uganda okubeeramu amateeka nga getambulirako nga engabo ye ggwanga era nakakasa nti wegatali tewaba kukola mirimu wadde okugenda mu maaso.

Ono awunzise asaba Besigye ayimbulwe era bwewaba waliwo ebyetaaga okutereeza mu fayiro byonna bikolebwe nga ali waka.

Kinajjukirwa nti abakulembeze bangi ku mitendera egyenjawulo okuli ne banadiini bazze bavaayo nga bavumirira ekikolwa ky’okukuumira munnakisinde ki People’s Front For Freedom Col. Dr. Kizza Besigye munkomyo ate nga mulwadde.

Kino kiddiridde Kkooti ensukkulumu okulagira abasibe bonna abali mu kkooti y’ Amagye okuzzibwa mu kkooti ezabulijjo ng’ egamba nti eno teyalina buyinza era nga evvoola Ssemateeka.

LANGUAGE