
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asisinkanye Ambasada wa Bungereza omuggya mu Uganda, Lisa Chesney nebakkiriziganya okwongera okutambulira awamu okutumbula embeera z’abantu.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu era olutuuse embuga abakulu bombi nebesogga akafubo akatakkiriziddwamu bannamawulire.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire, Katikkiro Mayiga agambye nti bakwongera okusitula abavubuka mu Buganda ne Uganda era bateeke essira ku miramwa egikulaakulanya abantu ba Kabaka.
Mukuumaddamula Mayiga amulambuzizza ekizimbe kya Bulange n’ekisenge ky’Olukiiko ekiteesezebwamu era namuyitira mu byafaayo byakyo ebitonotono.
Wano Kamalabyonna Mayiga ategeezezza nti Obwakabaka bulina enkolagana nnungi ne Bungereza okuviira ddala ku mirembe emikadde nga ne ggyo ly’abalamu Omulangira Edward Duke owe Edinburgh yakiika Embuga mu March w’omwaka oguwedde era nabaako endagaano gyakola ne Buganda.

Katikkiro Mayiga anokoddeyo eky’omulembe guno Omutebi okuba nga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka yaguwa bavubuka nga kino kitambula bulungi n’ebyo Bungereza byeyawera okussaako essira ng’ekiise embuga.
Ye omubaka wa Bungereza mu Uganda, Lisa Chesney akaatirizza obukulu bw’enkolagana yaabwe wakati wa Bungereza ne Buganda naddala mu kukuuma obutonde bwensi n’abavubuka.
Kinajjukirwa nti Ambasada Lisa Chesney ye mubaka wa Bungereza mu Uganda omuggya nga ekifo kino yakikwasibwa 15 October, 2024 nga adda mu bigere bya Kate Airey.