
Bya Shafik Miiro
Buvuma
Empaka za Mbuubi Cup ez’ omwaka 2025 wakati w’ Eggombololaez’ enjawulo zikomekerezeddwa era wano Minisita w’ Abavubuka n’ Ebyemizannyo, Owek. Robert Sserwanga yeebazizza abategesi olw’ omutindo.
Minisita Serwanga yatuukidde ku Mbuga y’Essaza ewategekeddwa omukolo gw’okulayiza abakulembeze b’Abavubuka mu Miruka era bano n’abakubiriza okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obulungi eri be bakulembera.
Abasabye obuteebulankanya mu kukola mirimu gya Bwakabaka n’egy’ essaza era beenyigire mu mirimu egibawa ssente beezimbe ng’abavubuka.

Oluvannyuma lw’omukolo guno, Bannabuvuma baggweredde ku Kisaawe e Magyo ewabadde emizannyo egiggalawo Mbuubi Cup 2025, era gye biggweredde nga Ggombolola Mumyuka Ssejja ne Ssaabagabo Nairambi bebawangudde empaka zino.
Mu kubaka, Mumyuka Ssejja ewangudde Ssaabagabo Nairambi ku bugoba 9-4, ate mu mupiira, Ssasbagabo Nairambi neewangula Mumyuka Ssejja 6-5 mu peneti, oluvannyuma lw’omupiira okuggwa amaliri mu ddakiika 90. Bano bombi bakwasiddwa ebikopo eby’obuwanguzi.
Wano Owek. Robert Serwanga, yeebaziza abategesi n’abazannyi bonna, n’alaga essuubi nti abamu ku bazannyi aboolesezza omutindo omulungi kibawa enkizo okuzannya mu mpaka ennene mu Buganda.
Mbuubi, Oweek. Michael Mboowa ategeezeza nti olw’omutindo ogwoleseddwa mu Mbuubi Cup, bafunye essuubi nti Buvuma ejja kukola bulungi mu mpaka za Masaza Cup z’omwaka guno era nti bazudde abazannyi abajja okukolera ddala bulungi.

Minisita mu lugendo lwe luno e Buvuma awerekeddwako Okukwanaganya w’Abavubuka mu Buganda Owek. Hassan Kiyemba, Ow’ebyemizannyo Omw. Musoke Hannington, Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda Omw. Baker Ssejjengo n’abakulembeze b’Abavubuka abalala.