Minisita Wamala Akubirizza Ebika okujjuza enkiiko z’Obukulembeze

Agafa e Mengo Feb 11, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Bulange – Mmengo

Minisita w’Obuwangwa, Emibiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda, Owek. Anthony Wamala akubirizza Ebika okujjuza enkiiko z’obukulembeze okusobola okunnyikiza emirimu gy’Ekika okutuuka ku bazzukulu n’okubaagazisa okugyetabamu.

Obubaka buno, Owek. Wamala abuwadde asisinkanye omukulu w’Ekika kya Nakinsige Omutaka Kyeyune Fred Mayega ne Katikkiro we Ssaalongo Ssekirembe Noah wamu n’abakulembeze abalala mu Kika mu kkakkalabizo lye mu Bulange ku Lwokubiri.

Owek. Wamala akkaatirizza ensonga y’Ebika okulongoosa Embuga zaabyo okutuukana n’omutindo oguweesa ekitiibwa era ogusikiriza abazukkulu okwenyumiriza mu Butaka bwabwe.

Minisita Wamala ayongeddeko nti Ebika birina okweyam bisa emitimbagano okutuuka ku bazzukulu n’okubamanyisa enteekateeka z’Ebika ez’enjawulo basobole okuziwagira.

Abakuutidde okukuuma ettaka ly’ Ebika nga balikolerako ebintu ebyenkulaakulana basobole okulitaasa ku basaatuusi ne bannakigwanyizi abeesomye okulitwala.

Ensisinkano eno etambulira wamu n’enteekateeka Obwakabaka gye buliko ey’okuzza omuggundu mu Bika, era Nakinsige by’ebimu ku Bika abyalambulwa omwaka oguwedde, mu nsisinkano mubaddemu okukubaganya ebirowoozo ku ntambuza y’emirimu gy’Ekika n’okwongera okutema empenda okuyitimusa Ekika.

LANGUAGE