Muleke Kusoosoowaza Byabufuzi, Mwongere Ssente Mu Byobulamu – Omulangira Nakibinge

Amawulire Feb 23, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Kibuli – Kyaddondo

Jjajja w’Obusiraamu Omulangira Dr. Kassim Nakibinge alaze obwennyamivu ku ngeri Gavumenti gy’ekozesaamu ssente z’omuwi w’omusolo ngeziteeka mu bintu ng’ ebyobufuzi neyeerabira ebintu nga ebyobulamu ebigasa abantu obutereevu.

Obubaka buno abuweeredde mu
Dduwa y’Omuzaaana era Nnyina, Hajjat Sarah Namusisi Kakungulu Nnyina w’Omulangira Kassim Nakibinge esomeddwa ku Kasozi Kibuli ku Lwomukaaga.

“Lwaki owa Bakkansala obukadde 3 nga tebasobola nakwogera luzungu lutuufu ate abasawo abali mukugezesebwa(Internees) nebakulema okuwa akadde,” Omulangira Nakibinge bw’ ategeezezza

Omulangira Nakibinge agamba nti eby’ obujjanjabi mu Uganda bisereba buli olukya nga omuntu okuteekebwa mukasenge kabayi weetaaga kubeera nabuwanana nga bangi zino tebazirina naasaba Gavumenti okukola ku nsonga eno.

Nakibinge annyonnyodde nti ssente nnyingi ezigenda mu misaala gya bannabyabufuzi ku mitendera gy’obukulembeze egy’enjawulo nga singa zizzibwa mu by’obulamu sisobola okukola enjawulo amalwaliro negafuna ebyuma eby’omutindo, n’ebbeeyi y’obujjanjabi nekendeerera ddala.

Dr. Nakibinge wano era yebazizza bonna abayimiridde naye n’abooluganda lwe bonna mu kiseera eky’okusoomoozebwa, okuva Nnyina lwe yafa nga 30/12/2024, era ayongedde okusabira omugenzi Allah amulamuze kisa.

Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ku lw’Obwakabaka yeebazizza olw’enteekateeka ennungi mu kugoberera ennono ate n’ennambika y’eddini omugenzi n’asomerwa edduwa ate n’aterwako n’omusika mu nkola y’okwabya olumbe akabonero akalaga nti okukungubaga kuwedde, obulamu buddemu okutambula obulungi.

Naye bwatyo agasseeko eddoboozi okusabira omugenzi Allah amulamuze kisa era amuwe e Jannah.

Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi asinzidde wano ne yeebaza abantu olw’omukwano gwe balaze eri Omulangira naddala mu kiseera ky’okusoomozebwa.

Sheikh Galabuzi era akubirizza abantu bulijjo okwagalananga n’okuyambagana mu mbeera zonna era bawagire emirimu gy’Obusiraamu okulaba nti gitambula bulungi.

Hajjat Sarah Kakungulu asikiddwa Omwana wa mwannyina Sarah Zaalugo Namusisi.

Omukolo gw’okusoma edduwa y’Omuzaaana Hajjat Sarah Kakungulu yetabiddwako abakukunavu ab’enjawulo, Abalangira n’Abambejja, Abakulembeze mu Gavumenti ya Kabaka n’eyawakati, Bamasheikh ab’enjawulo n’abantu abalala bangi ddala.

LANGUAGE