
Bya Shafik Miiro
Bombo – Bulemeezi
Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabye abazadde okuwuliziganya n’ abaana baabwe mu mbeera yonna kibayambe okuyita mu kusomoozebwa kwebasanga.
Okwogera bino abadde alambula Abasaakaate ku St. Janan Secondary School e Bombo mu Bulemeezi ewaakubwa embuga y’Ekisaakaate 2025 ku Lwokubiri.
Nnaabagereka asookedde mukulambula ebintu eby’enjawulo Abasaakaate bye babanguddwamu omwaka guno omuli; okusomesebwa ku buwangwa n’ennono, ebyemikono ng’okufumba, okukola emigaati ne kkeeki, okuluka ebibbo, eby’emizannyo ng’okuwuga, okusamba omupiira n’ okubaka.
Ebirala kuliko Tekinologiya ng’enkozesa y’emitimbagano, okukola ku leediyo, emisomo ku kwewala ebiragalalagala, yinsuwa n’ebirala.

Nnaabagereka yeebazizza bonna abaliko kye bakoze okulaba ng’abaana b’Eggwanga bateekebwateekebwa bulungi okutangaaza ebiseera byabwe eby’omumaaso naddala nga basomesebwa ku buvo bwabwe.
Ono ategeezezza nti omuntu okusobola okuwangula mu bulamu ateekwa okumanya gy’ava, kimuyambe okumanya gy’alaga, era ye nsonga lwaki mu Kisaakaate essira liteekebwa nnyo ku kumanyisa abaana obuwangwa bwabwe n’ennono wamu n’obuntubulamu.

Nnaabagereka wano waasabidde abazadde bulijjo okuteekangawo enkolagana ennungi n’Abaana baabwe okusobola okuwuliziganya mu mbeera zonna kibayambe okumanya ebibasoomooza olwo babayambeko okubivvuunuka.

Ono annyonnyodde nti omwaka guno abazadde bwe baayitibwa okukyalira ku baana baabwe mu Kisaakaate, waliwo okuwuliriza abazadde ku kusoomooza kwe basanga mu baana baabwe, era n’abazadde ne baabulirwa ebyo ebisoomooza abaana baabwe.
Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko asinzidde wano n’ategeeza nti bw’otunuulira engeri abaana gye bayigamu ebintu mu bwangu, kikulaga nti balina obwagazi eri ebibasomesebwa.
Owek. Nakate era asabye abazadde okubakwatizaako okulaba ng’abaana batwala mu maaso bye bayize olwo lwe bajja okwongera okubitegeera era bibagase.
Ssenkulu w’ekitongole ki Nnaabagereka Development Foundation, Omukungu Andrew Adrian Mukiibi ategeezezza nti webutuukidde olwaleero nga bamaze okutuukiriza byonna bye baateekateeka okubangula Abasaakate omwaka guno era nti balina essanyu nti n’Abaana bakwata era baagala bye basoma.

Omutandisi w’amasomero ga Janan Schools, Omukungu Mike Kironde agambye nti kya ssanyu okulaba nga abaana bakuguse mu bintu ebyenjawulo mu kaseera akatono ennyo era n’akunga abantu bonna okubaawo nga Ekisaakaate kiggalwawo ku Lwomukaaga basobole okwerabira kwebyo Abasaakate bye bagunjuseemu, kyongere okubawa ekifaananyi lwaki omwana asaana okutwalibwa mu Kisaakaate okubangulwa.
Okukyala kwa Nnaabagereka kujjidde ku lunaku lwa 10 ng’abaana batendekebwa mu bintu eby’enjawulo era Ekisaakaate kijja kukomekkerezebwa ku Lwomukaaga nga 18 Gatonnya.