Obuwangwa n’eddiini bikulu nnyo mu kuteekateeka abaana b’Eggwanga obulungi – Owek. Prof.  Kaawaase

Eby'obuwangwa Feb 23, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Kampala  – Kyaddondo

Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo agamba nti eddiini wamu n’ obuwangwa bikola omulimu munene nnyo mukugunjula Omwana obulungi ensi neesobola okumwanguyira.

Obubaka buno, Owek. Kaawaase abuweeredde ku Serena Hotel mu Kampala bw’abadde yeetabye ku mukolo gw’empaka za Kuraani ez’ abayizi mu ggwanga lyonna. 

Owek. Kaawaase asinzidde wano n’ategeeza nti omuntu amanyi obuwangwa bwe n’eddiini abeera wa njawulo era asabye abazadde n’abasomesa okufaayo okunnyikiza bino mu baana.

Mu mbeera y’emu akubirizza Abasiraamu okufaayo ku byenjigiriza, ebyobulamu n’enkulaakulana endala era naabakuutira okwenyigira mu bukulembeze ku mitendera gyonna.

Omukolo guno gwetabiddwako ; Omulangira Dr. Kassim Nakibinge, Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi, Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Hajj Ahmed Lwasa, Katambala Hajj Sulaiman Magala n’abantu abalala bangi.

LANGUAGE