Obwakabaka bukungubagidde Muzeeyi David Wamala

Amawulire Feb 07, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Kiyindi – Kyaggwe

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde Muzeeyi David Wamala eyavudde mu bulamu bw’ensi nebumwogerako ng’omusajja abadde ayagala ennyo ensi ye n’Obwakabaka.

Obubaka buno Kamalabyonna Mayiga abutisse Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek Joseph Kawuki amukiikiridde ku mukolo gw’okuwerekera omugenzi e Kiyindi mu Kyaggwe.

Kamalabyonna Mayiga yeebaziza nnyo Katonda olw’obulamu bwawadde omugenzi nga bumusobozeseza okukola emirimu gyonna omuli n’okugunjuula Omwami wa Kabaka ow’essaza mulamba omuntumulamu, omwetowaaze, omukozi ate nga afaayo okutuusa obuvunanyizibwa.

Owek. Mayiga asasiidde nnyo famire ye nga ekulembeddwamu Omwami w’essaza lye Buvuma Mbuubi Owek. Mboowa Michael Wamala me Nnamwandu Margaret Wamala  olw’eddibu lyebafunye.

Ku lulwe, Oweek. Kawuki yeebaziza nnyo Muzeeyi David Wamala olw’okukuza obulungi abaana nga Oweek. Michael Wamala gw’atendereza okubera omwesigwa ebbanga lyonna lyamulabidde nga ate muvumu nnyo ku nsonga za Buganda mu ssaza lye Buvuma.

Kinajjukirwa nti Muzeeyi David Wamala ye kitaawe w’Omwami alamulirako Ssaabasajja Kabaka essaza lye Buvuma, Mbuubi Oweek. Mboowa Michael Wamala.

Okuziika kuno kwetabiddwaako abaami ba Kabaka ab’amasaza, ababaka b’Olukiiko lwa Buganda Olukulu, ababaka ba Palamenti ab’enjawulo nabantu abalala bangi.

LANGUAGE